Ssenga

'Ekya Miss Uganda nkyewulira'

Ssanyu ; "Nasomanga nnyo obutabo bwa ba mmodo ne ndaba abalimu nga mbeegomba naddala Stella Nantumbwe, eyaliko nnalulungi wa Uganda"

'Ekya Miss Uganda nkyewulira'
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Okimanyi nti waliwo omuntu gw’otunulako n’oyagala omutwale, weekweke naye okumala ebbanga ng’abalala tebabalaba?
Kiki ky’otegeeza?

Ako kasimayiro k’otaddeko essaawa eno, olinga akuma omuliro mu bantu beekalakaase ate gavumenti ebayoole ebakube mu kkomera?
Ate omuliro gujjidde wa mu mboozi gy’onyumya?

Mbuulira ku mannya go 
Nze Honest Ahimbisibwe

Honnest Ng'anyumidde Mu Kasiriiti.

Honnest Ng'anyumidde Mu Kasiriiti.

Kale, lwa kusooka kwetooloola naye olina omuntu gw’onfaananidde gwe nayogeddeko naye eggulo....
Era ndowooza ye ggwe eyabadde mu kabookisi kange aka WhatsApp, mbuulira kye wabadde ong'amba.

N’akazigo keeko kennyini ke nalabye...
Ssebo, tuukira ku nsonga 

Kati odda wa?
Ngenda Makindye.

Nti gy’okolera emirimu gyo?
Nedda, nkolera ku UMI ku Jinja Road

Bulijjo oli muliraanwa wange awo n’otong'ambakokukuleetera waakiri ku ka ‘apo’ olyeko?
Ndi muliraanwa wo wa?

Ndi muwandiisi wa mboozi mu Bukedde ku First Street Industrial Area. Tuli kinnya na mpindi, n’ettendekero lya UMI gy’okolera
Mukulu, kati nkutegedde gy’ova.

Ku UMI okolerayo biki?
Ndi ‘cashier’

Mpa ku ssente
Nkwata za bakama bange.

Naye era osasulwa omusaala.
Ez’omwezi oguwedde, nazimazeewo.

Ky’ogamba nninde ku musaala gwa September?
Onzijukizaako mu budde.

Naye tonkola ebya Boss Lady n’ozinnangira oluvannyuma!
Nze ndi wa njawulo.

Biki ebirala by’okola?
Ndi mmodo.

Haaa! Onoonyezza musimbi...
Era nategeera okunoonya ssente.

Ani yakusikiriza okuyingira obwammodo?
Nasomanga nnyo obutabo bwa ba mmodo ne ndaba abalimu nga mbeegomba naddala Stella Nantumbwe, eyaliko nnalulungi wa Uganda.

Ndowooza naawe onootera okwesimbawo ku bwannalulungi wa Uganda?
Omwaka ogujja ng'enda kuvuganya ate mpangule.

Obuvumu obuggye wa?
Nnina ebisaanyizzo byonna eby’okubeera Miss Uganda ate n’emyaka gyange gyegyo.

Emyaka olina emeka?
24 ate teginswaza kujoogera.

Era oli mu myaka gyennyini egisalawo.
Bwe kiri

Ndowooza era wasalawo dda n’ofuna n’omuntu?
Bwe nnyingizaamu omuntu akadde kano, ebirooto byange mba mbiyiyeemu amazzi.

Okimanyi nti enteeetateeka zange ozoonoonye?
Ka nsooke ntuukirize ebirooto byange. Mpozzi ng’osobola okunninda emyaka nga 10 mu maaso!

Bw’obeera ggwe, emyaka 10 osobola okugirinda?
Ky’oyagala kikuseeza.

Ogasseemu n’engero, sijja kutawaana kukubuuza gye bakuzaala.
Nayo ka nkutegeezeeyo, nzaalibwa Ntungamo.

Kyama ki, ky’omanyi mu bawala abava e Ntungamo?
Tuba babalagavu.

Olowooza tokisussizzaamu?
Ago ge mazima, ggwe tondaba.

Kati bw’ova wano odda wa?
Ng’enda kuwummulamu.

Kiki ky’osinga okukola mu budde bwo obw’eddembe?
Nnyumira nnyo okubwebakamu.

Tags:
Ssanyu
Muwala
Honnest Ahimbisibwe
Bulungi