Ebibuuzo 10 ebimalawo essanyu mu maka ne gayuuga
Oct 29, 2024
"Ssente zo ozikozesa ki?" Kiwulikika nga ekyabulijjo ku ggwe akibuuza kyokka ku gw’okibuuza kimulaga nti tomwesiga oba olowooza nti ssente azikolamu ebitagasa.

NewVision Reporter
@NewVision
OBUFUMBO okunyumira ababulimu, kikulu okubutambuliza mu ssanyu n’omukwano wadde ng’okusoomoozebwa tekubulamu. Kyokka era, empuliziganya, kye kimu ku bisumuluzo by’obufumbo obutebenkedde.
Mu kuwuliziganya, mwemuba okwogera n’okukubaganya ebirowoozo ku mbeera zammwe ne ku bintu ebibatwala mu maaso nga abaagalana.
Kyokka wakati awo mu kuwuliziganya, oluusi mwe mujjira ebibuuzo, abaagalana bye basoya bannaabwe wakati mu kwagala okussaawo empuliziganya ate ne bireetawo obutategeeragana oba obutakwatagana mu kifo ky’okubagatta.
Abafumbo nga balina obutakkaanya.
Rebecca Naluyima, omukugu mu nsonga z’amaka agamba nti waliwo ebibuuzo abaagalana bye basaanye okwegendereza nga babibuuza bannaabwe kuba bisobola okukyusa amaka agabadde ag’emirembe ne gafuuka ag’ennyombo. Naluyima akikkaatiriza nti, nga bw’obeera ne muntu munno, toyinza butamubuuza ku bintu ebitali bimu.
Kyokka waliwo ebibuuzo by’obuuza munno ne bireeta ennyombo wakati wammwe era bino bwe biti, bitera okubuuzibwa mu ddoboozi eritali lya ggonjebwa era n’ekiseera mw’obuuliza, kyandyoleka nti waliwo kye weekengedde ne gw’obuuza ne yeekengera ate ne ‘ansa’ gy’akuwa, n’eyongera kusajjula embeera.
Kino kiri ku buli ludda, olw’omwami n’omukyala, nga buli lumu lusobola okubuuza ekibuuzo, ekiyinza okutabula amaka sso nga ate ne bwe kitandibuuziddwa, tekyandibaddeko gwe kikosa.
Ebimu ku byo bye bino;
1. Obwedda okola ki olunaku lwonna?
Gw’okibuuza, yandikivvuunula nti omuyise omugayaavu. Naluyima agamba nti wandibadde okyusaamu munno n’omugamba nti “Bbebi, mbuulira ku lunaku lwo bwe lugenze..” Wano oba tomusalidde musango nga tomanyi
bw’asiibye.
2. Ssente zo ozikozesa ki?
Kiwulikika nga ekyabulijjo ku ggwe akibuuza kyokka ku gw’okibuuza kimulaga nti tomwesiga oba olowooza nti ssente azikolamu ebitagasa. Osobola okukikyusaamu n’obuuza nti; “Byonna bye twetaaga obiguze nga ssente tezinnatuggwaako?
3. Lwaki okomawo awaka ekikeerezi bw’otyo, oludde wa?
Munno okukomawo ekikeerezi tosooka kukifuula musango wabula sooka omuddaabirize era omanye ekimukeereyesezza nga bw’omumalako obukoowu mu ngeri emugamba nti; “Mukwano leero kirabika emirimu obadde na mingi.” Osanga wano ayinza okuva awo, n’akunyumiza ekimuleetedde okukeerewa okudda awaka.
4. Lwaki emmere tennaggya?
Si kye kibuuzo ekisinga obulungi okubuuza mukyala wo kubanga naye ayinza okuba ayise mu lunaku olubaddemu ebimutawaana, obudde ne bumukwata. Ate kiwulikika nga ekibuuzo ekivumirira oba ekimusalira
omusango nti tamanyi kukwata budde.
5. Ani akukubira essimu mu kiseera kino?
Kino kiraga okwekengera kw’olina eri munno era n’akulaba ng’amubega mu buli ky’akola. Waakiri bw’olaba nga waliwo amukubidde naye ng’avudde mu mbeera, waakiri mubuuze nti; “Waliwo obuzibu bwonna?” Kuba omukwano kitegeeza okufuula embeera embi ezikwata ku mutima n’ozifuula ebiseera eby’okuseka n’okukwatagana.
6. Lwaki tokola nga gundi bw’akola oba lwaki tokoppa gundi?
Okugeraageranya munno ku muntu omulala kakibeere mukwano gwo, ow’omu maka go, oba wadde ssereebu, kiyinza okumuviirako okunyiiga nga yeebuuza lwaki oba togenda ew’oli gy’omugeraageranya.
Tekikoma ku kutyoboola nkola ya munno wabula era kiraga nti olina bangi abamusinga. Okugeraageranya kuno kuyinza okumuleetera okuwulira nti tasiimibwa oba teyeemala.
Bw’oba weegomba engeri ezimu mu balala, mu kifo ky’okugeraageranya munno, essira lisse ku by’osiima mu munno. Okugeza mugambe nti, “Njagala nnyo engeri gy’okwatamu embeera eno, era nandisiimye singa tukyusaamu ne tukola bwe tuti ne bwe tuti nga tuli wamu ku mbeera eno.’’
7. Ddala ogenda kwambala ebyo?
Kiwulikika nga ekitali kya bulabe naye kiyinza okutaputibwa munno nga okumunenya endabika ye oba ng’omulaga nga bw’atamanyi misono. Mu kifo ky’okubuuza ekyo, wandibadde omuwa endoowoza yo ku kiki ekiyinza
okumunyumira ku lunaku olwo lw’aba ayambalidde kiri ky’otosiimye.
8. Ogenze okukikola obadde olowooza ki?
Ekibuuzo kino kitera okujja ng’okunyooma naddala ng’omwagalwa aliko ensobi gy’akoze. Kitegeeza nti omusalidde omusango nti okusalawo kwe kwali kubi era yakukola akulaba. Osobola okugezaako okulaga okwagala okumanya endowooza ya munno, mu ngeri eteri ya kuvumirira.
9. Obadde ‘n’ani oba obadde okola ki?:
Oyo balo oba mukyala wo naye waliwo ebibuuzo ebimu nga biyingirira eddembe lye. Okugeza; munno agenzeeko ebweru katono oluba okuyingira munda, okwandibadde okumubuuzaako n’omutandikirawo nti; “Obadde
n’ani?, Obadde okola ki era mubadde mwogera ki?” ne bimumalako emirembe.
10. Kiki ekyaliwo mu mukwano gwo ogwayita?
Ebibuuzo ebigenda mu biti ebyayita oba ebikadde biba tebikyalina makulu ge bigatta ku mukwano gwammwe oguliwo.
Okugeza; bw’omanya nti ekyamwawula n’eyali omwagalwa we, yalimu embaliga naye ku ggwe bwe yakufuna ne yeetereeza, ate toddamu kukireeta mu ddiiro. Kiba nga bw’obuuza omuntu gw’olina nti; “Kiki ky’osinga okunjagalako okusinga kw’oli gwe walina...?” Lwaki munno oba omuzza mu kugeraageranya?
No Comment