"Ekirabo ky'abawala embeerera nze nkiwangula era nze n'olulenzi lwange twekuumye"

Nov 23, 2024

"Nze ndi mwesigwa, omulenzi omu ammala, saagala kugattikako balala"

By Musasi Bukedde
Journalist @New Vision

Eeee... muwala, wenna otiba butibi...!
Mwattu ebyaffe bwe birina okuba....

Baakutuuma linnya ki?
Ku lya Karungi sisukkawo.

Mbu baasooka kukulaba nga ky’ofaanana ne basalawo okukutuuma ekyo?
Oba otegedde otya?

Karungi Mu Kateeteeyi Akamunyumidde.

Karungi Mu Kateeteeyi Akamunyumidde.

Ndowooza ku lya Karungi, baagattako erya Mirembe kuba wenna olabika mirembe myereere...
Nedda, nze Sheillah Kalungi

Wulira bw’oyogera nga ki bbebi...
Era ndi bbebi kuba mpezezza emyaka 20.

Awo nneesiimye kuba ebivunaanibwa Don Nasser tebirina we binkwatira
Ha ha ha... Nfaaa..

Tofa nkyakwagala  
Sikyafudde ssebo.

Naye akawewo okawulira?
Nze kabadde tekannaba kumpisa bubi

Waa... gamba onoonya luwenda lwa kunnemesa kuggusa nsonga yange?
Amazima nnina n’essweeta era bwe kinsukkako nga njambala, kati empewo enenfuuyira wa?

Ye kati odda wa?
Ku kaalo amatendo Kasangati.

Ekitegeeza ng'enda kufuuka muko w’ab’e Kasangati?
Obuzibu mwogera leeti … e Ssingo twavaayo dda...

Akayimba ka Kiweewa tokamanyi?
Kaliwa konna?

Nti ntwalira ku kameeme maama.....
Ebyo by’ong'amba bbebi wange tabyagala.

Leka naawe, kati ffe abali ababiri ani agenda okubimugamba?
Yii?, kale wulira.

Ye ne bwe babimugamba, ky’ogamba babba mu kifulukwa?
Ggwe bapasula nabeera ayagala

Oba bw’akukyawa nze nkugambye nti sisobola kukwagala?
Nze ndi mwesigwa, omulenzi omu ammala, saagala kugattikako balala kuba kujjirako ebizibu ebirala bingi.

Mbu kiki ekyo omulenzi wo ky’alina abalala kye batalina?
Oli omwana ampa ka ‘care’, ankwata nga mumbejja.

Ate nze njagala kukukwata nga Kkwiini...
Waapi.. bwe mutyo bwe mwogera nga temunnakwasa...

Nkulaba ozalawa lanka naye gwe kkiriza bukkiriza ondozeeko olabe...
Gwe nnina mwekuumidde era sisobola na kwekyusa.

Wabula olabika wawoomerwa bya nsusso?
Nvaako... nkulaba onneebuuzisa ofune by’oteeka mu mawulire naye oswadde...

Nedda naawe, mbuuliraako katono, sijja kubyogera
Nze ne munnange twateesa nti teri kugikwatako okutuusa nga tumaze okufuna obufumbo obutukuvu.

Mbu bwe nzisaawo ekirabo ky’abawala embeerera okiwangula?
Bw’oba okirina, kimpe buwi kuba bye njogera ge mazima era nze naye, twekuumye.

Ha ha ha.... Kale gamba maama ne taata wange okufa oba by’oyogera tolimba mwana ggwe...
Bye njogera ndi siriyaasi. Tetwagala kumenya mateeka ga Katonda.

Anti bagamba amaaso g’Omuganda gali mu ngalo 
Otyo...? Yisaawo ensonga yo ssebo tuwulire!

Kale ebyo mbivuddeko, naye okola mulimu ki?
Nkyali muyizi

Wa? Osoma biki? Era mbuulira kiki ekikubeezann’omulenzi gwe omwananow’essomero?
Ndi ku Yunivasite era sirina mateeka ge mba mmenye, okubeerayo n’omulenzi gwe nneetegereza. Ekisinga obukulu, kya butagenda mu nsonga ziri kuba ate oyinza okusoba.

Amagezi olina mangi...
Ekitiibwa kya Mukama

Nkusiibudde.
Kale, weeraba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});