Biibino ebintu 10 by'osobola okukkaanyaako n'omwagala wo nga mutuuse ku ntikko

Jan 14, 2025

WALI weefumintirizza akaseera ako nga mwakamaliriza ensiitaano y’omukwano n’omwagalwa wo.

NewVision Reporter
@NewVision

WALI weefumintirizza akaseera ako nga mwakamaliriza ensiitaano y’omukwano n’omwagalwa wo.

Engeri abasajja gye batera okumalamu akagoba, batera okugwa eri ekikoowukoowu ng’amaanyi ge babeera bakozesezza gageraageranyizibwa ku muntu adduse mayiro musanvu ku bukoowu bw’abeerako.

Ne ku bakazi abamu munne bw’abeera amukalase bulungi akkakkana ebirowoozo era wano abamu otulo we tubatwalira singa tebabeera na mwetooloolo mulala.

Ssenga Edith Mukisa agamba nti akaseera kano katera okunyumira abaagalana abali mu mukwano omulungi n’ogutandika anti buli omu abeera wa mazima eri munne ate n’ebintu by’obadde otiitiira okwogera mwesanga mubyogedde.

Leero tukuleetedde ebintu 10 ebisobola okutereezebwa n’okukolwako mu kaseera k’ekiwejjowejjo.


1 Okwogera ku bibanyiiza oba ebyabanyiiza Olw’obusirifu bw’akaseera aka baawo oluvannyuma lw’ensiitaano, abaagalana bakakozesa okwogera ku bintu ebibanyiiza oba ebyabanyiiza.

2 Okwebaza Abakyala bakozesa akaseera kano okwebaza abaagala baabwe okubaagala, okubabeererawo mu buli mbeera n’okumusiima ku kintu ky’abeera amukoledde.

3 Okuwummula Abaagalana temusaanidde kubuusa maaso akaseera aka ‘’PILLOW TALK’’ kuba musobola okukakozesa okuwummula nga mwekulisa akaseera k’ensiitaano ke mubaddemu era wano abamu otulo we tubabbira.

4 Okusaba ky’oyagala. Ssenga Edith Mukisa agamba oluvannyuma lw’akaboozi, abakyala bakozesa nnyo akaseera kano okusaba ebintu bye baagala ku mutima. Wano omusajja naye abeera musanyufu nti afunye akaseera akanyuvu okuva ew’omwagalwa we era buli ky’amusaba abeera asobola okumusuubiza n’akimuwa.

5 Okwogera ku bikusanyusa Buli muntu abeera n’ebimusanyusa era oluusi bw’aba akaluubirirwa okubyogera kano ke kaseera k’alina okubyogereramu munne asobole okubitegeera.

6 Okwogera ku byobugagga n’ebiruubirirwa byammwe. Mu kaseera ng’ensiitaano y’omukwano ewedde, musobola okwebuulira ku byobugagga bye mutuuseeko ne bye mulina okukola. Kino kibayamba okuddamu amaanyi n’okutuuka ku biruubirirwa byammwe.

7 Okubuuza munno oba ensiitaano ebadde nsuffu. Omusajja akoseza akaseera kano aka ‘pillow talk’ okubuuza ku munne oba akaboozi ke bavuddemu kabadde kanyuvu, ebitagenze bulungi oba okumanya nti asobodde okutuuka ku ntikko.

8 Musobola okukozesa akaseera kano okuddamu akaboozi Olw’akaseera kano okubeera nga kanjawulo, abaagalana bakakozesa bulungi okuddamu akaboozi era ebigambo ebiba byogerwa n’ebikolwa bisobola okubaleetera obufaananyi obubasikiriza okuddamu omwetooloolo omulala.

9 Okwogera ku bulamu bammwe obw’omu maaso. Waliwo abakozesa akaseera kano okwogera ku biseera byabwe eby’omu maaso naddala ku nsonga z’abaana, okusoma kwabwe, biki bye mubategekedde, nammwe bye musobola okukola okwekulaakulanya.

10. Okukkakkanya situleesi: Akaboozi kalina engeri gye kakkakkanya omubiri n’ebirowoozo era akaseera nga mumalirizza osobola okuwaana ku munno oba okumugamba obugambo obuwoomu gye biggweera ng’omutima gukkakkanye n’ebirowoozo olwo omubiri ne guwona endwadde ezimu. Ebintu bino bikuwa enkizo obutasubwa kaseera kano mu kutebenkeza omukwano n’omwagalwa wo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});