Omusajja mubuulire amazima bwe wazaala olina abaana 3

Apr 01, 2025

MUWALA, omwami waffe yazze okundabako era omunneebaliza obubaka bwange n’ebirabo byonna.Naye natidde nga tunyumya, yagambye nti eky’okulabirira omwana waffe takirinaako buzibu kuba omusajja nnannyini mwana yafa.

NewVision Reporter
@NewVision

MUWALA, omwami waffe yazze okundabako era omunneebaliza obubaka bwange n’ebirabo byonna.
Naye natidde nga tunyumya, yagambye nti eky’okulabirira omwana waffe takirinaako buzibu kuba omusajja nnannyini mwana yafa.
Obwedda ayogera ku mwana omu. Kati abaana ababiri abalala b’olina obasse’? Ate ne taata w’omwana gw’ayogerako naye mufu. Wambuulirako nti omwami waffe tayagala mukyala yazaalako. Era n’ogamba nti tayagala bigambo ‘bya taata w’omwana ayagala
mmutwale amulabeko..’
Abasajja abamu embeera eno bagyewala kuba batya nti omukyala ayinza okuddamu n’ayagala abasajja be yazaalamu. Oluusi omukyala ayinza okuba teyakyawa musajja, ng’omusajja ye yakyawa era omutima ne gusigalayo nga bwe basisinkana basobola okuddamu omukwano.
Ekirala, omukyala yenna ng’alina abaana abasukka mu basatu abeera wa bizibu. Okuggyako ng’omusajja akwagala nnyo ate ng’alina n’akasente akawera, batono abasobola okulabirira abaana ab’omusajja omulala. Abaana abo bonna oyinza okwagala okubasitula obateeke mu maka ge ng’ate tonnamuzaalira. Era okyayinza okusalawo nti abaana  bagende babeere mu bakitaabwe.
Wadde nga nakyo kirina obuzibu anti omukyala tatereera era omutima gumuluma olw’abaana be ng’ayagala okubalabako. Ate oluusi omukazi ono, ayinza okusalawo obutaddamu kuzaalira musajja mulala anti ye alina abaana era omusajja n’obeerawo ng’olinda mwana ng’omukyala yeegema tayagala kuzaala anti yali anoonya waakwewogama. Abasajja abamanya bino, we basinziira okugamba nti tebaagala mukyala alina baana.
Noolwekyo, owuwo olina okumubuulira nti olina abaana so si mwana. Omwana talimbika era tosobola kumukweka. Oba oli awo ng’alwala ggwe nga nnyina olina
okumubeerako. N’abakuuma omwana wo bwe bamanya nti olina wooli basobola okukuleetera omwana wo kuba abantu abakkiriza obuvunaanyizibwa
batono ddala.
N’ekirala, okulimba nti taata w’omwana yafa nakyo kizibu. Singa mwami waffe amanya ayinza okulowooza nti wamukweka kuba  musobola okuddihhaana. Kiyamba okwogera ekituufu ku nsonga ez’abaana kuba si byangu kusigala nga byama. Eyo wakola nsobi naye kati simanyi bw’onookikola. Bw’osirika era ajja kutegeera. Naye singa omugamba kati nga temunnagenda wala kikuyamba kuba kati akwagala era omukwano alina mungi
gy’oli era asobola okumenyeka ku nsonga y’abaana. Olina okumugamba akusonyiwe nti walina okumulimba ng’otya okumufiirwa.
Oluusi ku basajja abamu, musobola okuteesa engeri gye mugenda okutambuza ensonga y’abaana bano naye olina okukkiriza amateeka g’anaakuwa. Omanyi ennaku zino abakyala abamu baagala okufuga amaka ku nsonga ng’eno.
Ne bakugaana okuleeta baana awaka n’obaleeta na kifuba, omusajja n’omumalako emirembe ekivaamu ng’akwesonyiwa oba ng’akuleka n’abaana bo. N’ekirala, omwami ono bw’anaakukyawa olw’abaana ng’omanya nti mu maaso eyo era yali waakukukyawa. Kuba abasajja abataagala baana basigala nga tebaagala baana. Ekyama ekikwatagana ku baana omusajja alina okukimanya nga temunnnagenda wala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});