Ebintu ebyekusifu 7 abakyala bye baagala mu baami baabwe
Apr 15, 2025
WAALI weebuuzizzaako ebintu omukazi by’ayagala mu bba? Nti era singa omusajja ogezaako okusoma ebirowoozo by’abakyala ayinza n’okusoberwa ku ddala abakazi kye baagala!

NewVision Reporter
@NewVision
WAALI weebuuzizzaako ebintu omukazi by’ayagala mu bba? Nti era singa omusajja ogezaako okusoma ebirowoozo by’abakyala ayinza n’okusoberwa ku ddala abakazi kye baagala!
Emboozi eno ekubikkulira ebintu ebikusike abakazi bye baagala mu basajja naye ate nga tebasobola kubisaba basajja butereevu.
Omukugu mu nsonga z’omukwano, Shamim Namuli e Buloba abirambuludde bw’ati;
1. Baagala omusajja atali mwangu wa kuteebereza ky’azzaako: Abakazi oluusi baagala abasajja ababatambuliza ku bunkenke ng’omukazi yeebuuza ky’azzaako. Omukazi yeetaaga lw’atakusuubira kukola kintu ate gwe n’okikola.
2. Yiga okuwuliriza: Abakazi baagala nnyo okwogera ate abasajja bangi tebawaayo budde bulungi kuwuliriza abakyala kye baba boogera kuba bakitwala nga kya bulijjo, omukazi okwogerayogera.
Kyokka ekyama kiri nti gy’okoma okufaayo okuwuliriza omukazi ky’agamba omukazi oyo gy’okoma okumuwangula ebirowoozo.
3. Mu kuwa omukazi ekitiibwa ate tokisussa: Kituufu omusajja asaanye okuwa mukazi we ekitiibwa naye ate tosukka we wandikomye. Omusajja, kalubyamuko ng’oyita mu bikolwa byo olage omukazi kiki ky’oyagala.
4. Yambala bulungi: Teeberezaamu bw’obeera n’omukyala eyeefaako ng’akaviiri n’akasusu kyekyo naye nga ggwe omusajja oli bibyo.
Abasajja kikulu okuyiga okwambala obulungi, teeka ssente mu ndabika yo, osanyuse abakulaba ate n’omukyala omusanyuse kuba bakyagala nnyo.
5. Weetengerere mu bintu ebisinga: Ekimu ku bicamula omukyala ye musajja alaga nti ye yeetengerera mu nsonga ezisinga. Abakazi beewaayo eri abasajja abalaga nti bamanyi eky’okusalawo si abeekwatakwata.
6. Okunyumirwa akaboozi akatali ka kuyingira kisaawe; Abakazi abamu banyumirwa ku basajja, ababayingiza ekisenge naye ne babanyumiikiriza okutuuka ku ntikko nga tebayingidde mu kisaawe. Abakazi baagala okubayiiyiza ne babakyusizaamu ate by’oba okyusizza ne binyumirayo.
7. Ekigambo nedda: Omusajja yeetaagamu okugaana mu bimu. Abakazi bagezesa abasajja okukakasa nti oba ali n’omutuufu. Era ezimu ku nkola ze bayitamu kwe kusaba ebintu bye basuubira nti bijja okubagoba naye abamu bagenda mu maaso ne babikola.
No Comment