Ssenga

ka ‘make-up sex’ okategeera ?

Ssenga Hamida Namatovu, abuulirira abaagalana agamba nti kibi omusajja okunoba, naye n’abakazi balina okweddako baleme kwekwasibwa kunoba kw’abasajja bano

Abali mu mukwano
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKUZZA OMUSAJJA ANOBYE
Ssenga Hamida Namatovu, abuulirira abaagalana agamba nti kibi omusajja okunoba, naye n’abakazi balina okweddako baleme kwekwasibwa kunoba kw’abasajja bano. Ssenga Hamida agamba nti kirungi okuzimba amaka agaggumidde agalimu omukazi n’omusajja ate nga gajjudde emirembe n’essanyu. Noolwekyo, omusajja bw’anoba,

omukyala baako ky’okola omusajja  okukomawo mubeere mwembi mu maka ageeyagaza. Manya bino, omukyala by’alina okukola okuzza  omusajja anobye?
Sooka omanye ebyamunyiiza atuuke kunoba. Bwe kiba kyetaagisa kubiwandiika kikole nga bwe weefumiitiriza, kikuyambako  okubeerako n’entandikwa y’okumuzza. Ssenga Hamida agamba nti manya nti omusajja ayagala nnyo okumuwa eddembe lye. Si kirungi kulunda musajja na kumuteekeko mateeka. Wadde wabaawo ebikusukkako ng’omukyala, eby’okuyombesa omusajja biveeko kuba ate bino bijja kumwongerayo.
Bw’aba anobye, muweemu ku budde. Sooka omuleka, bw’aba alina ekyamunyiiza obusungu bumuggweeko oluvannyuma mukwate mpola mpola, omuzze mu mbeera ze mwogerezaganye.
Ssenga Hamida asonze ku birala ebikolebwa okuzza omusajja  eyanoba;
1. Muyungulire eggye ly’emikwano gye: Kikulu nnyo gwe ng’omukyala okumanya banywanyi b’omusajja wo. Bano osobola okubatumayo singa omusajja akwecangirako, kuba abasajja abamu bakkiririza mu mikwano gyabwe. Osobola okubaako n’ebigambo ebiwaana by’osibirira mikwano gye ne babituusaayo, yeekube mu mutima akamewo
ewaka.
2. Kozesaku baana be muzadde: Basobola okukubira kitaabwe essimu nga bamubuuzaako era nga bwe bamulaga nti bamusubwa. Kuno bayinza okugattako okumusaba bamulabeko naye nga ggwe akatego ko, kaakumuzza waka.

3. Teekateeka ka ‘make-up sex’. Tandiikiriza ng’omuweereza ka kkokkkonyo osike omutima gwe asobole okudda mu maka Osobola okumukubira ekifaananyi ky’ekitundu kyo kye yali asinga okukwagalako nga bw’akirabako asabbalala. Kimusindikire,  alabe

Tags: