Ssenga

Omwami wange takyayagala kunyumya nange kaboozi, Nkoze ntya ssenga?

Omwami wange takyayagala kwegatta nange ate bwe mmubuuza kwe kiva tayogera. Nnina emyaka 35, ye alina 52.

Abaagalana
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omwami wange takyayagala kwegatta nange ate bwe mmubuuza kwe kiva tayogera. Nnina emyaka 35, ye alina 52. Namusanga ssemwandu ng’alina abaana 3, ne mbakuza
era bakola byabwe. Omwaka oguwedde, omwami ono yafiirwan nnyina ate omwaka guno omwana waffe omukulu n’afiira e South Africa, omulambo tebaaguzza. Ali mu

nnyiike, yafuna ne puleesa. Nkoze ntya kuba nze mpulira njagala kwegatta  naye kati emyezi munaana teri ky’agamba. Nkoze ntya ssenga?  Mwana wange mulabye n’ebizibu eby’okumu kumu ate nga bizito.
Okufiirwa omuzadde n’omwana si  kitono. Mu kunyolwa, n’amaanyi g’ekisajja gabula. Omwami wo alina situleesi y’amaanyi bw’eteba ‘dipuleesoni’. ‘Dipuleesoni’ abeera  mulwadde nga yeetaaga kulaba musawo wa bwongo. Mu Uganda edda, abantu  ebaafunanga nnyo ‘dipuleesoni’ anti ng’obeera mu ffamire buli kiseera ng’ekufaako. Kati olw’embeera eyo, bw’ofiirwa abakubudaabuda babeera batono ddala.
Ennaku zino buli muntu alina ebizibu era bw’ofiirwa batono abasobola okukubeerako
oleme kunyolwa nnyo. Me mbeera eno, omwami wo yeetaaga kulaba omusawo aleme kugenderera. Abasajja abasinga bwe bafuna ebizibu, eboogera ate tebalina mikwano nga
bakyala. Abeera yekka nga talina gw’agamba kizibu kye. Oli mukyala we naye obulumi bw’alina bungi ate ggwe tobutegeera bulungi kuba y’abubamanyi. Eby’okwegatta sooka obireke, munno mulwadde. Yafuna puleesa kuba ebizibu bye yafuna bizito. Puleesa ekendeeza ku bwagazi. Oluusi n’eddagala nalyo libagonza. Ate togenda mu bwenzi kuba eri bufumbo butafuna bizibu naye olina okubeera omugumiikiriza. Munno mubeereko nnyo ennaku zino abantu abamu ebizibu bwe biyitirira nga baggyawo obulamu bwabwe. Eddwaaliro ly’e Butabika, gye basinga okujjanjaba obulwadde nga buno. Naye bwe muba mulina akasente osobola okulaba omusawo ajjanjaba obwongo oba ‘dipuleesoni’. Munno alina okusooka okuwona okufuna amaanyi g’ekisajja.

Tags: