LOODI mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago ayagala ababaka ku kakiiko ka Palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti banoonyereze ku miwendo egyongezebwa mu pulojekiti za KCCA ez’enjawulo egirinnya okuviira ddala ku ezo ezibeera zisaliddwawo.
Loodi Mmeeya Lukwago Ng'annyonnyola.
Bw’alabiseeko mu kakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Nakawa West, Joel Ssenyonyi, Lukwago atageezezza nti waliwo pulojekiti nnyingi KCCA z’ediibudirako ensimbi z’omuwi w’omusolo ekivuddeko eggwanga okufiirizibwa obuwumbi bw’ensimbi z’ayagala zinoonyerezebweko.
Lukwago agasseeko nti KCCA ewa obuwumbi bw’ensimbi eri ebitongole okuli UMEME, eky’amazzi (NWSC), ne kkampuni z’ebyempuliziganya okutuusa obuweereza bwabyo mu bitundu KCCA gy’ebeera ezimba enguudo kyokka ng’amateeka gagamba buvunaanyizibwa bwa kkampuni zino zennyini okutuusaayo obuweereza mu bifo ebyo.
Ssentebe Wa Cosase Joel Ssenyonyi Ng'ayogera.
Ono era ategeezezza ababaka nti kkampuni za ba China eziweebwa kontulakiti teziri wano mu Kampala ate nga ne ku ‘ground’ bannannyini zo, tebalabikako kulaba mirimu bwe gitambula nga beeyambisa nkola ya zoom ky’agambye nti kino kye kivuddeko enguudo okubeera nga ziri zityo.
Mu kwanukula, nnankulu wa KCCA Dorothy Kisaka ategeezezza nti akadde ke baali bafunye okusisinkana bannannyini kkampuni zino, baali bazzeeyo ebweru wabula nga ku ‘ground’ kwo babeerako.
Akakiiko Ka Cosase Nga Katudde.