Amawulire

Yeekokkodde omulugube n'obulyake mu bannaddiini ekivuddeko okutunda emmaali y'Obusiraamu

AKULIRA ddaawa e Kibuli, Sheikh Yasin Kiweewa avumiridde omulugube n’obulyake obususse mu bakulembeze b’eddiini ensangi zino nga bino bye bivuddeko n’okwagala okutunda emmaali y’Obusiraamu ku nnyondo.

Sheikh Yasin Kiweewa (ku kkono) nga akulembeddemu okusaaza Jumah ku Masjid Rasid e Bwaise.
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

AKULIRA ddaawa e Kibuli, Sheikh Yasin Kiweewa avumiridde omulugube n’obulyake obususse mu bakulembeze b’eddiini ensangi zino nga bino bye bivuddeko n’okwagala okutunda emmaali y’Obusiraamu ku nnyondo.

Kiweewa okwogera bino abadde akulembeddemu okusaaza Jumah ku Masjid Rashid e Bwaise n’ategeeza nga bwe kyennyamizza ennyo okulaba ng'ensonga  z’emmaali  y’Obusiraamu ze zisiiba ku mimwa gy’abantu nga balumiriza abamu okwagala okubyezibika. 

Ategeezezza ng'omulugube ogw’ekika ekyo bwe guviiriddeko okuvumaganya eddiini y’Obusiraamu nga balowooza nti abakulembeze bonna bwe batyo bwe beeyisa.

Ono asiimye nnyo pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olw’okuvayo n’ayimiriza ekikolwa ky’okutwala eby’obugagga by’Obusiramu ku nnyondo n’ategeeza ng'ako bwe kali akabonero k’obuwanguzi.

Abamu ku beetabye mu kusaala Jumah ku Masjid Rashid e Bwaise.

Abamu ku beetabye mu kusaala Jumah ku Masjid Rashid e Bwaise.

Kyokka asabye Bannayuganda okukitegeera obulungi nti ekya Pulezidenti okuyimiriza okutwala emmaali y’Obusiraamu tekitegeeza nti omusango guvuddewo wabula balina okusigala nga beegayirira Allah abataase.

Kiweewa asabye abo bonna abalumirizibwa okwenyigira mu mivuyo gy’okutunda emmaali y’Obusiraamu okwekuba mu mitima waakiri balekulire ng'ekimu ku birabo bye basobola okuwa Abasiraamu ba Uganda.

Ategeezezza nga Abasiraamu bwe bali abeetefuteefu okwesondamu ensimbi okununula ebintu byabwe kyokka nga kino kisaana okukolebwa nga abazza emisango bamaze okulekulira.

Ono era akubirizza Abasiraamu n’okuwaayo omusolo gwa Allah ogwa Zakah kubanga y’emu ku mpagi eziyimirizaawo Obusiraamu.