Omutendesi Khalifa ayise 30 mu nkambi y'abatasussa myaka 20
Oct 20, 2021
OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga ey’abawala abatasussa myaka 20 abasamba omupiira gw’ebigere Ayub Khalifa Kiyingi ayungudde abazannyi 30 okwesogga enkambi leero (October 20, 2021) nga beetegekera ‘CECAFA U20 Women’s Championship’.

NewVision Reporter
@NewVision
Uganda be bategesi ng’empaka zino zitandika ku Lwakuna wiiki ejja (October 28, 2021) zikomekkerezebwe nga November 10, 2021 mu kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru.
Ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 ebadde yaakamala okuwandulamu eya Kenya ku mugatte gwa ggoolo 10-3 mu z’okusunsulamu abaneetaba mu ‘2022 FIFA U20 Women’s World Cup’ en’ebeera e Costa Rica.
Era omutendesi bw’abadde eyita abagenda okwetegekera CECAFA, abazannyi abasingako obungi be baawanduddemu eya Kenya.
Abayitiddwa
Mu ggoolo: Daphine Nyayenga (Lady Doves FC), Joan Namusisi (Kampala Queens FC), Diana Natukunda (Kawempe Muslim Ladies FC), Saida Namwanje (Luweero Giant Queens FC)
Ayub

Ayub
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’abawala abatasussa myaka 20 abasamba omupiira gw’ebigere Ayub Khalifa Kiyingi
Abazibizi; Sumayah Komuntale (Tooro Queens FC), Grace Aluka, Biira Nadunga ne Gillian Akadinda (aba Olila High School FC), Stella Musibika, Asia Nakibuuka, Samalie Nakacwa ne Aisha Nantongo (aba Kawempe Muslim FC), Halima Kanyago (Lady Doves FC),
Abawuwuttanyi; Margaret Kunihira, Shamirah Nalugya ne Shakirah Nyinagahirwa (aba Kawempe Muslim Ladies FC), Zaina Nandede (Kataka SHE FC), Phiona Nabulime (Devine Soccer Academy), Catherine Nagadya ne Kevin Nakacwa (aba Uganda Martyrs High School FC), Olivia Babirye (Lady Doves FC).
Abateebi; Fauzia Najjemba (Kampala Queens), Hadijah Nandago (Kawempe Muslim Ladies FC), Juliet Nalukenge (Apollon Ladies FC), Zaituni Namaganda (Taggy High School FC), Joweria Nagadya (Lady Doves FC), Eva Naggayi (Rines SS WFC), Aisha Namukaaya (Dynamic SS Jjeza WFC), Constance Nelima (She Kataka FC), Ronah Regina Nantege (She Corporate FC).
Abakungu; Ayub Khalifan Kiyingi(omutendesi), Oliver Mbekeka(Mumyuka), Mubarak Kiberu(Wa baggoolokippa), Stella Nankumba(musawo), Cissy Nakiguba(Majeja), Faridah Tomusange Nassejje(Mawulire).
No Comment