Amawulire

Kagame e Rwanda akaaye: Ayimirizza Minisita w'abavubuka ku mulimu n'amuggalira mu nnyumba

E Rwanda Pulezidenti Paul Kagame akaaye bw'ayimirizza Minisita we ow'abavubuka n'obuwangwa, Edouard Bamporiki  n'amuteekako ne bakkomando obutamukkiriza kufuluma maka ge okutuusa ng'amaze okunoonyerezebwako ol'ebimwogerwako nti yeetaba mu ddiiru ez'obuli bw'enguzi.

Pulezidenti Kagame owa Rwanda
By: Wilson Ssemmanda, Journalist @New Vision

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ofiisi ya Katikkiro w'eggwanga eryo, okuyimiriza Bamporiki kwavudde ku nsonga za kuwa mbalirira ezaamulemye okunnyonnyola nga kiraga nti yatigiinya ensimbi z'omuwi w'omusolo kwe kulagira anoonyerezebweko era ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango ekya Rwanda Investigation Bureau ku mukutu gwakyo ogwa 'Twitter'.

Bamporiki Edouard

Bamporiki Edouard

Bamporiki, 39, abadde muwagizi nnyo wa Kagame n'ekibiina kye ekiri mu buyinza era alina amaanyi mangi ku mikutu gya 'Social Media', muwandiisi wa bitabo, mukozi wa firimu, era muzannyi wa mizannyo egy'oku leediyo.

Ono era abadde ku lukiiko lwa Kabineeti okuva mu 2019. Bamporaki yaliko omubaka mu Palamenti gye buvuddeko.

Tags: