Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira agambye nti wakati mu kusoberwa n'okuboonabona mu nsi , Yesu ly'ekkubo n'amazima n'obulamu
Ategeezezza nti mu kiseera kino ebintu biri ku buseere, obubbi n'ettemu bingi, enjala nyingi e Karamoja nga n'awamu bakaaba kyeya olw'omusana omungi , nti naye tusaana okubeera abagumu era twongere okunywerere ku Mutonzi .

Abaana nga bamaze okussibwako emikono
Bino Omulabirizi Luwalira abyogeredde ku Kannisa ya St James Kyabaggu e Masajja ku Luguudo lw'e Busaabala bw'abadde assaako abaana abasoba mu 80 emikono leero
Agambye nti omuntu alina okukkiriza tawugulwa mbuyaga ne bweba nnyingi era n'akuutira abaana abassiddwako emikono okubeera abanywevu