Abasawo 6 balaze engeri eyeewuunyisa Katonda gye yatondamu Kabanda ow’ensigo

Oct 21, 2022

ABASAWO abakugu 6 balaze engeri eyeewuunyisa Katonda gye yatondamu Kabandaabadde yeemulugunya nti abasawo ba Old Kampala Hospital baamuggyeemu ensigo ye eya kkono. Abasawo abakugu 6 omuli abaakuguka mu bifaananyi bya sukaani babiri (2), abeebyokulongoosa abali ku ddaala lya Pulofeesa babiri(2), omukugu mu by’ensigo n’omukugu mu by’ebwongo be baayunguddwa ekibiina ekitwala abasawo ekya Uganda Medical and Dental Practitioners Council, okwekenneenya oba Muhammad Kabanda yaggibwamu ensigo ye. Bano baazudde nti Kabanda yatondebwa n’ensigo emuennene. Bino byayanjuddwa ssentebe w’ekibiina kino, Dr. Joel Okullo eri bannamawulire ku Media Centre ku Lwokuna.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

ABASAWO abakugu 6 balaze engeri eyeewuunyisa Katonda gye yatondamu Kabanda
abadde yeemulugunya nti abasawo ba Old Kampala Hospital baamuggyeemu ensigo ye eya kkono. Abasawo abakugu 6 omuli abaakuguka mu bifaananyi bya sukaani babiri (2), abeebyokulongoosa abali ku ddaala lya Pulofeesa babiri(2), omukugu mu by’ensigo n’omukugu mu by’ebwongo be baayunguddwa ekibiina ekitwala abasawo ekya Uganda Medical and Dental Practitioners Council, okwekenneenya oba Muhammad Kabanda yaggibwamu ensigo ye. Bano baazudde nti Kabanda yatondebwa n’ensigo emu
ennene. Bino byayanjuddwa ssentebe w’ekibiina kino, Dr. Joel Okullo eri bannamawulire ku Media Centre ku Lwokuna.
Yategeezezza nti, baakuhhaanyizza ebifaananyi 5 ebyakubwa Kabanda mu malwaliro
okuli; Mulago, Mengo, Nsambya Hospital, Malcom ne Kampala Image Centre ne balaba nga tewaabaddewo bwetaavu kuteeka Kabanda mu sikaani ndala kubanga kikosa obulamu bwe ate ng’ebifaananyi byonna biraga ekintu ekifaanagana. Yagambye nti olukiiko lwe lwatumizza abasawo ba Old Kampala Hospital abaalongoosa Kabanda n’ebiwandiiko byonna ne babyekenneenya kwe kutuuka ku byazuuliddwa bino wammanga: 1 Kabanda yatondebwa n’ensigo emu ennene. Abasawo baazudde nti bwe yali atondebwa ensigo ye eya kkono yeegatta ku ya ddyo nga n’omusuwa ogwandigibaddeko gwegatta ku ya ddyo.
2Enkovu eyasalwa ku lubuto lwa Kabanda w’eri si we watuufu okusala ssinga omuntu aba ayagala kuggyamu nsigo.
3 Bwe baakebedde Kabanda, asobola okusitula n’okutambuza okugulu kwe okwa kkono, ekitandibadde kyangu ssinga baali baamuggyamu ensigo eya kkono, 4Kyabulijjo okuggya amasavu ku lubuto kubanga gabeerako mangi ssinga abasawo baba baagala
okubaako we baziba n’ennyama. Dr. Katumba Ssentongo yategeezezza nti etteeka erifuga olukiiko lw’abasawo luno liwa eyeemulugunya olukusa okuwakanya bye luzudde ng’alina kuddukira mu kkooti enkulu mu nnaku 90

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});