Amawulire

Aba St. Charles Lwanga Jinja- Kalooli batandise kampeyini okuzimba akatale ak'omulembe

Klezia ya St. Charles Lwanga Jinja- Kalooli Parish etandiise kaweefube w'okusonda ssente ez'okuzimba akatale ka St. Monica Modern Market okuyamba okwongeza ku nnyingiza ya Klezia.

Aba St. Charles Lwanga Jinja- Kalooli batandise kampeyini okuzimba akatale ak'omulembe
By: Steven Kiragga, Journalists @New Vision

Omukolo guno gwetabiddwako msgr.Lawrence ssemusu eyakikiridde ssabasumba nga yasabye Abakristu okubeera obumu era bakolereere nnyo eggulu.

Parish eno era ebadde ejaguza emyaka 60 nga wano basazeewo okuzimba akatale okuyamba abantu bonna saako okuddukiriira emiriimu gye Klezia.

Baminista okuli Gen. Katumba ow'ebyenguudo ne Hajjati Minsa Kabanda owa Kampala beeyamye okulaba nga gavumenti evaayo okukwatizaako Klezia okulaba ng'ekifo kikulaakulana bulungi.