ABATUUZE ku mwalo gwa Portbell e Luzira bavudde mu mbeera nga bawakanya ekya kampuni ekola ku mulimu gw'okutambuza amasannyalaze okuva ku mwalo gwa portbell okugatuuza mu Namanve Industrial Park eya Uganga Electricity Transmission Company Limited (UETCL) nga tebasasuddwa.
Abanytu nga bawakanya eky'amasannyalaze
Abatuuze ku mwalo guno nga bakulembeddwamu ssentebe w'abasuubuzi b'ebyennyanja ku mwalo guno Peter Kyeyune bategezezza nti bewunya nnyo okuba nga baludde ku ttaka emyaka egisoba mu 30 nga basasula n'omusolo kyokka mu kiseera kino babategeeza nga ekitongole kya KCCA bwekitabamanyi. Alaze obw'ennyamivu n'ategeeza nga ensonga eno bw'ekwatiddwa empola kyokka nga ekitongole ky'amasannyalaze kyandibadde kyabasasula dda nga bagenda mu maaso n'emirimu gyabwe mu mirembe nga tewali anyigirizibwa. Umar Muksa nga mutuuze ku mwalo guno ategezezza nga bwebanyigirizibwa ennyo olw'omuweno gwa sente omutono ogubaweebaw mu kubaliyirira ky'agamba nti tegugya mu kifo ekyo.San 2
Ategezezza nga ekitongole bwekibalirirako ebintu byokka ebiri ku ttaka nga tebabaze ttaka ky'agamba nti tekibeera kya bwenkanya. Oluvannyuma lw'abatuuze okuwakanya eky'ekitongole kya UETCL okugenda mu maaso n'okuzimba ebikondo by'amasannyalaze nga tebannaba kusasula batuuze kubamalayo , baddukidde mu wofiisi ya meeya we Nakawa Paul Mugambe okulaba nga ensonga zaabwe zitunulwamu. Meeya Mugambe atuseeko mu kifo kino n'ategeeza nga bw'atayinza kukkiriza mulimu guno kugenda mu maaso nga abantu tebasasuddwa.San 9
Eng. Mark Namungo nga y'avunanyizibwa ku kulabirira omulimu gw'okuzimba ebikondo bino ategeezezza nga bwewaliwo obukakafu nti abantu abasinga baasasulwa dda era nga bano balinga ebitundu 98%. Namungo asabye abantu okusigala nga bakkakamu kubanga buli kimu kyebakola bakikola mu mateeka. Micheal Taremwa nga y'akulira ekitongole kya UETCL ategezezza nga bwebaatandika edda okuliyirira abantu bano nga waliwo n'abantu abalala abaasasuddwa ku Mande nga 07 November nga n'abo abasigaddeyo b'ebo bokka nga ebiwandiiko byabwe tebinnaba kukakasibwa ku bwanannyini.San 14
Kyokka ategezezza nti singa bano banaakakasibwa ku bwanannyini ensimbi zaabwe nabo ziggya kubaweebwa.