Okusaba okuyingira 2023 e Namirembe: Kazimba yeekkokodde abakungu ba Gav't abalya ssente z’omuwi w’omusolo

Jan 01, 2023

SSABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda Dr Stephen Kazimba Mugalu yekkokkodde abakungu ba Gavumenti abalya ssente z’omuwi w’omusolo ne baleka eggwanga mu katyabaga. 

NewVision Reporter
@NewVision

Yasinzidde mu kusaba kw’olusooka omwaka okwabadde mu Lutikko e Namirembe ku Ssande ne yekokkola ebikolwa by’okulya ssente z’omuwi w’omusolo olwo eggwanga ne lisigalira emabega. 

Kazimba era yennyamidde olw’abantu abasusse ennyo okwekalakaasa ne boonoona n'ebintu kye yagambye nti balina okukikomya mu mwaka guno omupya. 

“Noyasa amadirisa g’eddwaliro oba ag’essomero olw’obusongasonga obutono. Kati enkya oba onoddukira wa ng’oyagala obujjanjabi? Nsaba mukyuse mu mbeera zammwe mudde eri Mukama mu mwaka guno omupya,” Kazimba bwe yayongeddeko. 

Yasabye bannaddiini bonna okuba obumu mu mwaka omupya n'ategeeza nti “agali ewamu ge galuma ennyama”. n'agamba nti abantu bwe batambulira ewamu bingi bye basobola okutuukako okusinga nga beetemyemu. 

Kazimba yasoose mu kusaba kw’okumalako omwaka okwabadde mubimuli bya Lutikko e Namirembe gye yalagidde okunyolwa eri abantu abamu abavudde ku Mukama ne beeyuna amasanyu g'ensi. 

“Tuli wano mu kusaba naye abantu abasinga kati bali mu kwokya bipiira, abalala bali mu kwesiwa magengere, naye omwaka ogumazeeko otya? Bannange mukyuke mudde eri Mukama kuba ye yekka atayiwa,” Kazimba bwe yayongeddeko. 

Yasinzidde mu kusaba kuno era n'asaba Mukama aleete omulabirizi omupya mu bulabirizi bw’e Namirembe nga naye amanyi okubuulira enjiri nga Luwalira bw'abadde akola. 

Ye omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira yakuutidde abakkiriza okufuba okwekwasa Katonda mu buli kye bakola wadde nga bingi ebisomooza. 

Yasabye abantu okufaayo okwebaza Katonda ebyo by'abayisizzaamu ate bamwekwase asobola okubatambuza obulungi ne mu mwaka omupya nga batukuvu ate nga bamutya. 

Okusaba kwatandise ku ssaawa 12:00 ez'akawungeezi era nga kwetabiddwako bannaddiini ab’enjawulo, omubaka wa Busiro East mu Palamenti; Medrad Lubega Sseggona n'abalala bangi. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});