ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya NUP bali mu kusala magezi ku ngeri gye bagenda okuzza omulambo gwa looya Anthony Wameli abadde akulira eby'amateeka mu kibiina ekyo.
Wameli yafiiridde mu ddwaaliro lya Boston Medical Center mu ssaza ly'e Massachusetts mu Amerika gy'abadde ajjanjabirwa okuva mu June 2021 nga kigambiobwa nti abadde ajjanjabibwa kookolo w'omu lubuto
Akulira NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu, yategeezezza mu bubabak bwe yatadde mu mukutu gwa twitter nti aba NUP bali mu nteeseganya n'ekitebe kya Amerika mu Uganda okuyambako mu kuzza omulambo gwa Wameli.
Ensonda mu NUP zaategeezezza nti, banoonya obukadde obusoba mu 200 okukola ku nteekateeka ez'okuzza omulambo gwa Wameli wabula ssente ezo mu kiseera kino teziriiwo.
Omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi yategeezezza nti, bakwataganye ne famire y'omugenzi n'ekitebe kya Uganda mu Amerika okukola ku nteekateeka z'okuzza omulambo gwe mu ggwanga ate mu bitiibwa.
Evelyn Mwasa muganda wa Olive Wameli mukyala w'omugenzi yategeezezza nti, bakyateesa ku buli ekyetaagisa okuzza omulambo.
Anthony Wameli y’abadde omutandisi wa kkampuni ya Wameli and Company Advocates mw’abadde akolera emirimu gye egy'obwalooya. Y’abadde omu ku basumba b'ekkanisa ya Ebenezer Christian Fellowship e Kanyanya era nga yavuganyaako ku kifo ky'omubaka wa Namisindwa ku kaadi ya NUP .
BALOOYA BAKYALI MU KIYONGOBERO
Looya Medard Lubega
Sseggona: Wameli yabadde akulira ensonga z'amateeka mu kibiina kyaffe ekya NUP era ffenna balooya mu kibiina nga y’atukulira. Abadde musajja mugumu, muvvumu ate nga mumaliririvu. Yali omu ku balooya be twawoza omusango gw'obululu gwa Robert Kyagulanyi (Bobi) bwe yali awaabidde Museveni okubba obululu.
Twatuuka ekiseera nga bitusobodde abajulizi baffe nga bawambiddwa era nga tetukyasoba kugenda mu maaso n'omusango naye Wameli yatuzzangamu amaanyi nti, tukyasobola okuwangula era ng’agamba nti ne bwe kiba kyetaagisa kubuukira pikipiki n’atwala empapula z'omusango ye takirinaamu buzibu.
Looya Roberts Kagolo: Ebbanga lyonna lye nkoze ne Wameli muyigiddeko okubeera omukkakkamu n'okulwanirira abalala ne bwe muba temugatta ndowooza.
Mu biseera bya COVID ng’abantu ne balooya tebakkirizibwa kukola, Wameli yavaayo n’alwanirira balooya ng’awaabira Gavumenti olw'obutatuteeka mu bantu ab’enkizo abateekeddwa okukola mu muggalo gwa COVID. Olw'omusango gwe yawaaba, Pulezidenti Museveni yakkiriza balooya bakole mu COVID era ffenna kwe kutandika okulabikako mu kkooti nga tuwolereza abantu.
Bwe twali mu musango gwa Gen. Henry Tumukunde nga poliisi emukutte, Wameli yeewuubanga ku poliisi ng’oyinza okulowooza nti, alwanirira waaluganda era obumalirivu.
Looya Luyimbazi Nalukoola: Kuva buto kirabika Wameli omutima gwe gwali mu bantu abanyigirizibwa kubanga abadde musajja mulokole ate nga paasita naye yali yasalawo okuwolereza Abasiramu gavumenti b’ezze etulugunya n’okusiba.
Mugeraageranya ku basajja be tusomako mu byafaayo abazira kubanga yali mulamuzi wa kkooti naye n’asuulawo ebitiibwa by'obulamuzi nadda mu bwapuliida okulwanirira abantu abanyigirizibwa, kino tekitera kusangika.
Looya Zephaniah Zzimbe: Balooya abamu nga nze okutandika okuwoza emisango gy'omubaka Muhammad Ssegirinya tubadde tugendera ku katiba Wameli ke yaleka kubanga ye yagisookamu