Ab’e Lamwo balumiriza omubaka waabwe okugabira abantu abatalina kufuna mabaati
Mar 02, 2023
AB’E Lamwo balumiriza omubaka waabwe omukyala Nancy Acora okufuna amabaati n’agagabira bassentebe ba NRM n’abaamuwenjeza akalulu.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Edith Namayanja
AB’E Lamwo balumiriza omubaka waabwe omukyala Nancy Acora okufuna amabaati n’agagabira bassentebe ba NRM n’abaamuwenjeza akalulu.
James Ocen, kkansala w’eggombolola Katum ku disitulikiti y’e Lamwo era nga y’amyuka sipiika w’olukiiko wamu ne Fred Dan Anywar (mutuuze) bazze mu ofiisi y’omubaka omu ku palamenti nga bagamba bbo tebaweereddwa mukisa kujja mu kakiiko kubaako bye boogera ku mabaati.
Bazze n’ebifaananyi ebiraga omubaka Acora ng’alina abantu bagabira amabaati bye bagambye nti baali tebateekeddwa kugafuna.
James Ocen Amyuka Sipiika Wa Disitulikiti Y'e Lamwo Ng'annyonnyola.
Bategeezezza nti Acora yagabira bassentebe ba NRM kw’ossa n’abaamuyambako mu kuwenja akalulu mu magombola 19 nga buli omu yaweebwa amabaati 20.
Bagamba nti amabaati gano gaaweebwa minisita w’ebigwa bitalaze, Hillary Onek mu May 2022 okugenda mu ffamire ezaali zikoseddwa embeera y’obudde nga gano gaweerezebwa ku disitulikiti era nga gaali amabaati 700.
Bbo CAO ne ba RDC abaali balina okugagaba beewuunya kyajja kitya okulekebwa emabega ye omubaka waabwe n’ajja okugagaba.
Bategezeezza nti bwe babuuzizza omubaka ku nsonga zino yagambye nti amabaati gano yali yagasaba eyali sipiika omugenzi Jacob Oulanyah mu June 2022 kyokka nga kye beewuunya mukadde kano Oulanya yali yafa dda mu March.
Bagambye nti bagezezaako okutuukira abakulu ku OPM, IGG okubayamba ku nsonga eno wabula nga buteerere.
Omubaka Acora ku nsonga eno ategeezezza nti ye amabaati geyagaba kituufu yali yagasaba dda (Oulanya) nga tegakwatagana na mabaati gava mu office ya Katikkiro (OPM).
Bano abayise bannabyabufuzi abeenoonyeza ebyabwe kubanga ye mu kadde kano naye ali mu kubanja mabaati agaleetebwa okuva ku OPM agagabire abantu be.
No Comment