Amawulire

Ababaka bawuniikiridde ku ngeri NAADs gye yasaasanya obuwumbi 21

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti bawuunikiridde bwebakitegedde nti ekitongole kya NAADs kyasasaanya obuwumbi obusoba mu 21 okusaawa ensiko ku faamu 2 eza kampuni ya Atiak Sugar Factory.

Aba NAADS nga bali mu kakiikoka COSASE
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti bawuunikiridde bwebakitegedde nti ekitongole kya NAADs kyasasaanya obuwumbi obusoba mu 21 okusaawa ensiko ku faamu 2 eza kampuni ya Atiak Sugar Factory.

Nga bekennenya alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2021/2022, akakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi kakizudde nga engeri obuwumbi n’obuwumbi gavumenti bwewa kampuni eno bungi busasaanyibwa mu ngeri eyewuunyisa.

Abakola mu NAADs nga bakulembeddwamu ssenkulu waayo Dr. Sam Mugasi leero bagasimbaganye n’ababaka ku kakiiko okwanuukula ebirumira ebyalabikira mu alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo nga ababaka bakizudde nga ekitongole kino kyaziimulwa emitendera mwe kyalina okuyita okugabira Atiak kontulakiti ey’okuzimba ebikajjo.

Eteeka lya Public Procurement and Disposal of Public Assets liragira ebitongole bya gavumenti okulanga emirimu era amakampuni negewandiisa newabaawo okuvuganya ku eriwa ekira ku ginaayo wabula nga kino tekyakolebwa bano nebawa Atiak omulimu nga tewali ajivuganyiza.

Mu Lamwo yiika 31,159 zamalawo obuwumbi 15, mu Amruu yiika 15,000 zamalawo obuwumbi 6 mukusaawa obusaayi ensiko ewasimbibwa ebikajjo ekitabudde ababaka nebagamba nti ne faamu zino zandibanga teziriyo kubanga tebaleese biwandiiko biraga