Aba Youth Wealth Creation e Lubaga balaze Vayibu nga baaniriza Pulezidenti Museveni.
BANNALUBAGA abaagaanyulwa mu pulogulamu ya State house ey’okulakulanya abantu abakola emirimu gya wansi eya, Youth wealth Creation Programme, balaze vayibu nga beetaba ku bannakibina kya NRM abalala okwaniriza omwagalwa wa bangi pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Abaganyuddwa mu nkola ya State House nga bakumba okugenda e Lubaga ku rally ya Pulezidenti
Leero Pulezidenti Museveni agenda kukuyega abantu b’e Lubaga okumuyiira akalulu akanaamutuusa ku buwanguzi ng’olukungaana mu Lubaga lukubiddwa ku ssomero lya Kitebi P/S.

Abaaganyulwa mu nkola ya State House ey'okulwanyisa obwavu nga bakumba mu kibuga
Aba Youth wealth Creation Programme, nga bakulembeddwamu agikulira Faisal Ndase, bakumbye okuva e Nakulabye nga bakulembedwaamu bandi okutuuka ku kisaawe ewali olukungaano okusobola okulaga omwagalwa wabwe omukwano n’okumwebaza okubaduukirira.

Aba Youth Weath Creation programme nga bali mu vvayibu
Ndase agambye nti omuli gwe ogwamukwasibwa akulira amaka g’Obwapulezidenti Jane Barekye, kwaali kutuusa buyambi bwa pulezidenti eri abantu bano era yagukola bulungi kati abantu bano okuvaayo okulaga Pulezidenti omukwano mu bungi kuba kumwebaaza.