OBAMENYI b'amateeka abamenya n'okusala amabaati ne banyagulula abantu batadde abe kanyanya ku bunkenke ne basala ebitongole ebikuuma ddembe okusitukiramu
Morisi Bazira akulira eby’okwerinda e kanyanya mu kikuubo zooni mu minisipaali ye kawempe yagambye nti nga LC ebadde ne poliisi ye kanyanya bageezezzako okulwanyisa obubinja abamu ne batwalibwa mu kkooti ne basalibwa ebibonerezo bwe babimalirizza ne bakomawo mu kitundu ne batandikira we baakoma .
Abantu nga balaga amayumba agakubiddwamu ebituli
Yagasseko nti obubinja buno batambula n’ebisi okuli ennyondo, ebiso saako ne nsuluulu ze bakozesa okusima amayumba balina n’amayumba agatasulwamu ge bakozesa okwekukumamu ne batulizzaamu enkiiko n’okuwumulizzamu omuyango ng’abasinga okutigomya ekitundu bava mu bitundu birala okuli Bwaise , Kaleerwe , Kyebando nga balina abaana enzaalwa ez’omu kitundu ababazigirira.
Yayongeddeko nti ekibinja kino kisobya ne ku bakazi ng’abamu bagenda ku LC ne baggitegeezzako abalala olwensonyi ne basirikiraaayo we yasabidde abakazi okukomya okutambula ekiro saako n’okwewala okunywa omwenge oguyitiridde okwewala okutyoboola ekitibwa kyabwe .
Penina Ndawula Namwandu w’omugenzi Ndawula y’omu gwe baamenyedde ekiyumba kye nkoko ezisoma 200 n’ebazitwala yagambye nti muno mwabadde ajja ebisale by’abaana eby’essomero saako n’okwerabirira nga kati talina watandikira