Ababaka beewuunyizza engeri NAADs gye yasaasaanyaamu obuwumbi 21 mu kusaawa ensiko e Lamwo ne Amruu okusimbako ebikajjo!

Aug 10, 2023

ABABAKA ku kakiiko ka Palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti bawuunikiridde bwe bakitegedde nti ekitongole kya NAADs kyasaasaanya obuwumbi obusoba mu 21 okusaawa ensiko ku ffaamu 2 eza kampuni ya Atiak Sugar Factory.

NewVision Reporter
@NewVision

ABABAKA ku kakiiko ka Palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti bawuunikiridde bwe bakitegedde nti ekitongole kya NAADs kyasaasaanya obuwumbi obusoba mu 21 okusaawa ensiko ku ffaamu 2 eza kampuni ya Atiak Sugar Factory.

Nga beekenneenya alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2021/2022, akakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Nakawa West, Joel Ssenyonyi kakizudde engeri obuwumbi n’obuwumbi gavumenti bw'ewa kampuni eno bungi bwe busaasaanyibwa mu ngeri eyeewuunyisa.

Mohamad Abdi Ahmed Akulira Okuteekerateekera Fakitole ya Atiak Nga Alina By'annyonnyola Akakiiko.

Mohamad Abdi Ahmed Akulira Okuteekerateekera Fakitole ya Atiak Nga Alina By'annyonnyola Akakiiko.

Abakola mu NAADs nga bakulembeddwamu ssenkulu waayo, Dr. Sam Mugasi eggulo bagasimbaganye n’ababaka ku kakiiko okwanukula ebirumira ebyalabikira mu alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo nga ababaka bakizudde engeri ekitongole kino gye kyaziimula emitendera mwe kyalina okuyita okugabira Atiak kontulakiti ey’okusimba ebikajjo.

Etteeka lya Public Procurement and Disposal of Public Assets liragira ebitongole bya gavumenti okulanga emirimu era amakampuni ne geewandiisa ne wabaawo okuvuganya ku eriwa ekira ku ginnaayo wabula kino tekyakolebwa bano ne bawa Atiak omulimu nga tewali agivuganyizza.

Akakiiko Ka Cosase Nga Kasisinkanye Aba Naads

Akakiiko Ka Cosase Nga Kasisinkanye Aba Naads

Mu Lamwo yiika 31,159 zaamalawo obuwumbi 15, mu Amruu yiika 15,000 zaamalawo obuwumbi 6 mu kusaawa obusaayi ensiko ewaasimbibwa ebikajjo ekitabudde ababaka ne bagamba nti ne ffaamu zino zandiba nga teziriiyo kubanga tebaleese biwandiiko biraga.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});