Abeesunze okuwasiza abakazi mu ssente za gavumenti z'emiruka bubakeeredde!

Mar 28, 2023

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Victoria Musoke alabudde abantu abaafunye ssente za Parish Development Modal (PDM)  obutetantala kuziwasaamu bakazi

NewVision Reporter
@NewVision

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Victoria Musoke alabudde abantu abaafunye ssente za Parish Development Modal (PDM)  obutetantala kuziwasaamu bakazi oba okwejalabya mu bintu ebirala kubanga kaakubajjuutuka.

Minisita Lusoke Ng'atongoza PDM.

Minisita Lusoke Ng'atongoza PDM.

Ono alagidde  abakulira emiruka (Parish Chiefs) okulondoola abantu bano. Okwogera bino asinzidde mu kutongoza enkola ya PDM ku kitebe kya disitulikiti y’e Lwengo n’asekerera abantu be yayise bannakigwanyizi abagamba nti ensimbi zino teziriiyo.

Yakakasizza nti emiruka 43 mu Lwengo gye gimaze okufuna ssente. Yatenderezza gavumenti ya pulezidenti Museveni olw’okumalawo embeera ya ddukadduka n’entalo ebyali bizzizza eggwanga emabega n’ategeeza nti kati olutalo Pulezidenti Museveni lw’aliko lwakumalawo bwavu mu ggwanga.

Ssentebe Kitatta(ku Kkono) ,minisita Victoria Lusoke, Omuwandiisi Wa Pdm, Patrick Mutoni Ne Rdchood Hussein Mu Kutongoza Pdm

Ssentebe Kitatta(ku Kkono) ,minisita Victoria Lusoke, Omuwandiisi Wa Pdm, Patrick Mutoni Ne Rdchood Hussein Mu Kutongoza Pdm

Ye ssentebe wa disitulikiti, Ibrahim Kitatta n’akulira abakozi, George Ntulume  bategeezezza nti emiruka ebiri okuli Malongo ne Katovu gye gitagenda kufuna nsimbi zino olw’okuzuulibwa nga abakulembeze b’ebyalo ate be beewandiisa okuzifuna.

Mu ngeri y'emu, batenderezza gavumenti okufaayo ennyo mu byobulamu kuba ekizibu ky’ebisulo bya basawo n’ebitanda bya balwadde yamaze okukinogera eddagala. Ate ye RDC Hood Hussein alabudde abantu abaafunye ssente zino obutakemebwa kuzikolamu birala.

Abamu ku baafunye ensimbi zino basiimye Pulezidenti Museveni olw’okubajjukira n’abaggya mu bwavu. MinisitaVictoria  Lusoke asaze akaguwa akaggulawo okusindika ssente ku akawunti z’abo abateekeddwa okuzifuna era n’assa n’omukono ku kipande kwe baawandiise obubaka obugamba nti “ Jjajja Tova ku Main”

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});