Abasodokisi balangiridde olutalo ku bwavu, enguzi n'obutasoma
Apr 17, 2023
Abakulembeze b’Abasodokisi mu Klesia ya ‘Genuine Orthodox Church’ balangiridde olutalo ku nguzi n’okutumbula eby’efuna ne bagamba nti bino bye bimu ku bijja okutwala eggwanga lino mu maaso.

NewVision Reporter
@NewVision
Abakulembeze b’Abasodokisi mu Klesia ya ‘Genuine Orthodox Church’ balangiridde olutalo ku nguzi n’okutumbula eby’efuna ne bagamba nti bino bye bimu ku bijja okutwala eggwanga lino mu maaso.
Ssaabasumba w’Eklesia eno Nektorios Vlydka, yagambye nti bino bye bimu ku biremesezza ebitundu ebimu okukulaakulana kubanga abantu tebafuna buweereza bwe balina kufuna.
Yayongeddeko nti wakati nga balwanyisa obwavu n’enguzi, bagenda kufuba nnyo okutumbula ebyenjigiriza naddala buli awali Ekelesia yaabwe.
Yabadde ku Kelesia Luttiko eya Genuine Orthodox e Kawanga mu ggombolola y’e Malangala mu Mityana, mu mmisa ey’okukuza Paasika ku Ssande.
Ssaabasumba yakunze abakkiriza okwenyigira mu bikolwa ebirungi naddala ebitwala eggwanga mu maaso. Yalabudde abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okwewala ebikolwa ebibatyoboola n’okutyoboola eggwanga.
Yanokoddeyo Baminisita abagambibwa okubba amabaati g’e Karamoja n’agamba nti ensonga zino zirina okukwatibwa n’obwegendereza, kubanga ziswaza eggwanga.
Ssentebe w’eggombolola y’e Malangala, Atanus Busuulwa eyakulembeddemu abatuuze basiimye Kelesia olwebyo byekoze mu kitundu ne basaba gavumenti okubakwatizaako.
Yagambye nti enkulaakulana batandise okugiraba naye beetaaga ebintu ng’amasannyalaze, enguuzi n’amazzi, okukolebwako mu bwangu.
No Comment