Amawulire

Eyaliko minisita w'eby'obulambuzi akunze Bannayuganda okujjumbira okulambula ensi yaabwe

EYALIKO Minisita w'ebyobulambuzi mu ggwanga, Polof. Ephraim Kamuntu akunze Bannayuganda okwettanira okulambula ensi yaabwe, ng’emu ku ngeri ey’okwongera okusikiriza abalambuzi okujja kuno.

Ku ddyo ye yaliko Minisita w'eby'obulambuzi Polof.Ephraim Kamuntu ng'alambula emidaala mu mwoleso gw'eby'obulambuzi ogugenda mu maaso e Munyonyo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya James Magala

EYALIKO Minisita w'ebyobulambuzi mu ggwanga, Polof. Ephraim Kamuntu akunze Bannayuganda okwettanira okulambula ensi yaabwe, ng’emu ku ngeri ey’okwongera okusikiriza abalambuzi okujja kuno.

Okwogera bino Polof. Kamuntu asinzidde Munyonyo bw'abadde yeetabye mu mwoleso gw'eby'obulambuzi ogumanyiddwanga Pearl of Africa Tourism Expo 2023 nga leero guyingidde olunaku olwokubiri nga gwetabiddwamu abalambuzi okuva mu mawanga agawerako.

Nnalulungi W'eby'obulambuzi Owa 2022 Nabulya Sydney Kavuma Ng'azina Amazina Amaganda  Mu Mwoleso.

Nnalulungi W'eby'obulambuzi Owa 2022 Nabulya Sydney Kavuma Ng'azina Amazina Amaganda Mu Mwoleso.

Omuzungu Ng'abugaanye Essanyu Olw'okulaba Emisono Gy'ekiddugavu Mu Mwoleso Gw'eby'obulambuzi Ogugenda Mu Maaso E Munyonyo.

Omuzungu Ng'abugaanye Essanyu Olw'okulaba Emisono Gy'ekiddugavu Mu Mwoleso Gw'eby'obulambuzi Ogugenda Mu Maaso E Munyonyo.


Polof. Kamuntu alambuziddwa ebintu eby'enjawulo ebikolebwa mu Bannayuganda omuli; ebiruke, ebibajje n'ebirala.

Ono asiimye Bannayuganda olw'obuyiiya, nga wano abakunze n'okujjumbira okulambula eggwanga lyabwe ng’ emu ku ngeri y'okwongera okutumbula eby'obulambuzi.

Ono Ng'azina Ekitaagururo.

Ono Ng'azina Ekitaagururo.

Bano Nga Bazina Amazina Amaganda Mu Mwoleso Gw'eby'obulambuzi Ogugenda Mu Maaso E Munyonyo.

Bano Nga Bazina Amazina Amaganda Mu Mwoleso Gw'eby'obulambuzi Ogugenda Mu Maaso E Munyonyo.

Mu ngeri y'emu Polof. Kamuntu ategeezezza nti mulimu gwa Bannayuganda okutunda Uganda ebweru, olwo n'abantu abalala bamanye biki ebikolebwa kuno kyokka n'abasaba n’okwettanira okugula ebintu ebikolebwa mu ggwanga.

Mu mwoleso guno Bannayuganda okuva mu buwangwa obw'enjawulo boolesezza obubwangwa bwabwe omuli; ennyambala,amazina g'ekinnansi n'ebintu ebirala bingi ebiggyayo ekifaananyi kya Africa..

 

 

Tags:
minisita
okukunga
Bannayuganda
okulambula