By’obadde tomanyi ku Kato Lubwama: Abadde musamize ateegaana...!
Jun 08, 2023
KATO Lubwama abadde n’ebitone ebitasangika ng’okubeera munnabyabufuzi, munnakatemba, omuyimbi, muwandiisi w’ennyimba era omuweereza ku leediyo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
KATO Lubwama abadde n’ebitone ebitasangika ng’okubeera munnabyabufuzi, munnakatemba, omuyimbi, muwandiisi w’ennyimba era omuweereza ku leediyo.
Amawulire g’okufa kwe gaakanze bangi kuba tebaamuwuliddeko nga mulwadde, okuggyako okukeerera mu kiyongobero.
Amannya ge mu bujjuvu y’abadde Paul Kato Lubwama wadde ng’ery’eddiini abadde talikozesa.
Yazaalibwa August 16, 1970. Pulayimale yagimalira ku Nabagereka P/S, ate S4 n’agituulira ku Old Kampala SS mu 1988. Yafuna dipulooma mu katemba, okuyimba n’okuzina okuva ku yunivasite e Makerere mu 1994.
Yakulira mu 'Ghetto' ku Martin Road mu Kampala gye yali abeera ne nnyina Nnaalongo Margaret Lubwama ng’omulimu gw’okutunda amanda gwe gubayimirizaawo. Olwo kitaawe Ssaalongo Matiya Lubwana yali yafa.
Yali muweereza ku leediyo ya CBS okuva lwe yatandika mu 1996 okutuuka mu 2015 lwe yavaayo n’asalawo okuyingira ebyobufuzi.
Abadde ali mu bizinensi y’okutunda obuwunga nga yalinako ttivvi ya B24 eyaggalawo oluvannyuma.
OKUZANNYA KATEMBA
Embeera ya ‘street’ kwe yayigira okupambana n’ensi era bwe yali ku pulogulaamu y’omuntu w’abantu ku Bukedde Ttivi yagamba nti yatandika eby’okuzannya katemba mu 1985.
Yasooka kuzannyira mu kibiina kya Black Pearls ey’omugave Ndugwa, kyokka n’avaayo mu 1994 ne batandika Diamonds Essemble ng’ali ne Ashiraf Ssemwogerere.
Okuvaayo agamba kyava ku mukama waabwe okugaana okubatongoza nga takkiriza nti bakuze.
Mu kuzannya katemba kwe yava okukola bbandi y’okuyimba eya Diamonds Production eyalera abayimbi abawera abaafuuka abamaanyi mu ggwanga nga; Ronald Mayinja, Geoffrey Lutaaya, Mesach Ssemakula, Syliver Kyagulanyi, Mariam Ndagire, Martin Angume, Angella Kalule, Rebecca Jjingo, Fred Maiso, Fiina Masanyalaze n’abalala.
Naye afudde akukkuluma nti bangi ku b’ayambye bw’amala okubasitula nga bamwabulira. Era abadde takyayagala kuyamba nti tafunyemu.
Kato abadde musajja atatya loosi era ng’amanyi okulumba abayimbi abayimba ebitategeerekeka b’abadde alumiriza okubonoonera omulimu.
Mu by’okuyimba abadde yeegeraageranya ku Philly Bongole Lutaaya, Moses Matovu owa Afrigo, Frank Mbalire, Eclas 'Sitale' Kawalya ng’agamba nti be batono abategeera kye bakola.
Abadde yeemanyi ekintu ky’agamba nti kimulemesa okukyakala obulungi kuba abantu abasinga abali mu kibuga balina amaalo.
“Abantu abasinga mu kibuga balina amaalo batambula basuula ebintu buli wantu. Okuggyako okugendako mu jjiimu ne ndya ekigere n’olumu okugendako mu Afrigo sirina walala we nnyinza kukyakalira”, Kato bw’abadde agamba.
Ayimbye ennyimba eziwerako ezimujjukirwako okuli; Tulye, Bank y’ebyama, Abantu Bazibu, Abanaku, Dimitiriya ne Tetunnakkuta lwe yayimba mu 2020 ng’asaba ekisanja ekyokubiri.
EBYOBUFUZI YASABA BAMUWE ALYEKO
Mu kulonda kwa 2016 yawangula ekifo ky’obubaka bwa Lubaga South ng’asiguukulula John Ken Lukyamuzi.
Yayitira mu mukago gwa Ssuubi. Mu kunoonya obululu yasabanga abalonzi bamuwe naye alyeko ekintu kye bakkiriza.
Kyokka mu 2021 bwe yayagala okukomawo baamutegeeza nti kye baamuwa kimala ky’alidde kimala era tebaamwongera.
We yabeerera mu Palamenti yali atuula ku kakiiko akakola ku byokwerinda era ng’atera okuteesa. Kyokka mu lukiiko lwa Palamenti ey’awamu bitono ebimujjukirwako.
Abadde akkiririza mu kibiina kya DP wadde nga bwe yatuuka okwesimba ku bubaka bwa Palamenti mu 2016 teyajjira ku kaadi ya kibiina kyonna. Yategeeza nti yali takyesiga bakulembeze kuba emitima gyabwe baagitunda. Afudde tayagalira ddala kibiina kya NUP ekintu abamu kye bassa ku kubeera nti eyamuwangula mu 2021 (Aloysius Mukasa) wa NUP
ABADDE MUSAMIZE ATEEGAANA
Kato Lubwama abadde musamize ateegaana , wabula ng’amanyi okugamba nti abeera tasamira abeera asinza. Kino kibadde kyewuunyisa kuba yategeeza nti kitaawe omugenzi Ssaalongo yali ayagala asome busaserodooti ne bimulema naye n’afundikira nga Ssaabakristu.
“Kye muganda singa Abazungu tebajja, Abaganda bonna bandigenze mu geyeena. Katonda kuva dda nga tumumanyi era nga gwe tusinza era nze tonzigya ku nnon”, Kato bwe yategeeza ng’ayogera ne Bukedde Ttivvi.
Kibadde kigambibwa nti abadde alina essabo mu makaage agasangibwa mu Canaan zzooni e Mutundwe era nga bwe bakimubuuza takyegaana.
FFAMIRE YE TAGIREETA MU BANTU
Kato abadde agamba nti mukyala we Ann Namatovu balina abaana mukaaga naye nga bamaze emyaka egiwera 25. Yasooka kuwasa mukazi mulala bwe baalemagana n’awasa ono gw’alina.
Ekimu ku bintu byabadde yeenyumirizaamu kwe kubeera nga buli mukazi gw’azze abeera naye y’asooka okumwegomba era bwe bamala okwagalana bakimutegeeza.
Kino kibadde kimuyamba obutakozesa bigambo bingi ng’akwana kuba abeera asindika asitamye.
Ffamire ye yasalawo tagireeta mu butaala era ne bw’abeera n’obuzibu ne mukyalawe tajja mu mawulire kuba buli kizibu basobola okukyemalira bokka. Wadde nga mukyala we kafulu mu by’okutendeka amazina g’ekinnansi gonna mu ggwanga, yasalawo kubeera waka asobole okulabirira bba.
No Comment