Dr. Mayanja avuddeyo ku bya bbanka y’ensi yonna okumma Uganda ssente
Aug 15, 2023
MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja yeewuunyizza bbanka y’ensi yonna olw’okusalawo okukomya okuwola Uganda, n’awa amagezi nti kisaana kwetegereza endagaano Uganda gy’ebadde nayo, bwe wabaawo obusobozi okugiwawaabira ekikole.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja yeewuunyizza bbanka y’ensi yonna olw’okusalawo okukomya okuwola Uganda, n’awa amagezi nti kisaana kwetegereza endagaano Uganda gy’ebadde nayo, bwe wabaawo obusobozi okugiwawaabira ekikole.
Bino Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma buli Ssande, okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi okutuusa ku 2:30 ez’ekiro nga yabadde akyaziddwa TERAH KAAYA, ate bye yayogedde biwandiikiddwa omusasi waffe WILSON W. SSEMMANDA.
EKIBUUZO: Minisita, amawulire ga World okukomya okutuwa looni ogavvuunula otya?
Minisita Mayanja: Bbanka y’ensi yonna, yakawahhamudde. Neewuunyizza okuba nti baasazeewo nti tebagenda kuddamub kutuwola, olw’ekyo kye tukkiririzaamu!
Ekyamazima ekiriwo, World Bank tetuwangako ssente, nti ziizo tuzikuwadde ku bwereere, nedda era ebadde etuwa mabanja.
World Bank eyo gy’olaba baagissaawo nga ssematalo awedde, naye we yaggweera nga Bulaaya yonna Germany egikubye n’egisensebula.
Tolaba nga mu kiseera kino Germany yeegatta ne Bungereza, Bufalansa ne America okukuba Russia? Mu kiseera ekyo Germany eyakulemberwanga omusajja gwe baayitanga Adolf Hitler yali nkambwe nnyo nga bagamba nti bo balina omusaayi ogw’enjawulo.
Era ye abaana abaazaalibwanga e Germany ng’abanywesa amata ag’enjawulo kubanga beerabanga nga bantu ba njawulo, era bangi bwe baakula, n’agamba nti k’atandikewo amakolero ag’enjawulo, Germany yeefuge Bulaaya n’ensi yonna. Era ye bwe yatuuka awo mu 1938-39 n’alangirira olutalo ku mawanga ga Bulaaya gonna.
Yasookera ku Romania, n’ayingira Poland nga tewali n’omu amusongamu olugalo.
Bwe yava eyo n’alumba Bufalansa, olwo ne Benito Mussolini owa Italy ng’amwegasseeko olwo ne bakola olutalo ku nsi yonna.
Naye bwe baalumba Bungereza (omanyi Bungereza kasi katono akeetooloddwa amazzi, newankubadde kaali kafuga ensi yonna).
Kaakati Hitler bwe yalangirira olutalo ku Bungereza, Katikkiro wa Bungereza, Winston Churchill n’alangirira nti baali bagenda kulwana eri yenna anaalumba Bungereza okuva mu buli nsonda.
Hitler bwe yawulira ebigambo ebyo n’atya n’agenda asooke akube Russia.
Olutalo olwo lwonna lwatwala emyaka egiwera etaano. Kyokka America yo teyalwana, wabula yaweerezanga mmere, amawanga ne gakuba Germany ne batuuka
n’okugikutulamu amawanga abiri; West Germany ne East Germany.
Naye mu byonna ng’olutalo luwedde, America yali ebanja amawanga ga Bulaaya kubanga ye yagaweerezanga emmere mu lutalo ate era nga y’erina ne ssente.
Kwe kukola endagaano ya Bretton Woods eyavaamu okutondebwawo kwa World Bank. Naye abantu bano engeri gye bakozesaamu ssente za bbanka eno erimu obusosoze. Bwe bawola Argentina eyagaggawala edda bwe bawola ne Uganda ekyakula, bonna bazzaayo amagoba ge gamu.
Naye bino bye baagambye nti tebakyaddamu kutuwola kubanga twekolera etteeka erinaakuuma abantu baffe mu nnono zaffe, haa basaaga n’okusaaga.
Twakolako endagaano egamba nti eddiini yaffe eneebeera nga eyammwe? Kwe kugamba obwavu kibi nnyo. Era Pulezidenti kye yavudde agamba nti nedda sijja kubafukaamirira.
Ekisooka, nze ndowooza nti Bbanka eno twandibadde tugiwawaabira ne mu kkooti, era njagala ndabe ku ndagaano yaffe nabo, naye sisuubirayo kawaayiro kagamba nti banaatuwolanga ssente bwe tunaabanga tulina abantu ab’engeri ezimu be tukkiriza, nedda.
Kati oba tewali mbeera bwetyo, muyinza mutya okugamba nti temujja kutuwola olw’ekyo?
Mmanyi nga Pulezidenti Museveni alina emikwano mu nsi yonna era tujja kufuna bannaffe abanaatuyamba.
Ate Ssaabalwanyi ke yaboggodde, ojja kulaba nga bakomyewo okusaba bateese naffe, naye tujja kumalako nga tetulina mabanja gaabwe.
No Comment