Maurice Kirya naye ayuuguumizza Serena Hotel; Ebyana biwala byesaze obukete abasajja ab 'amaddu ne bamira amangota!......
Sep 09, 2023
Maurice Kirya naye ayuuguumizza Serena Hotel; Ebyana biwala byesaze obukete abasajja ab 'amaddu ne bamira amangota!......

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
BYANA biwala by’esunye obukete mu mbeera ya kookoonyo ne birumba mu kivvulu kya Maurice Kirya ekyabaddewo ekiro ekikeeseza leero Olwomukaaga. Ekivvulu kyayindidde ku Serena Hotel mu Kampala.
Kirya yalinye ku kisteegi ssaawa 2:30 ez’ekiro naakuba abadigizi endoonga wakati mu kuyimba nabo era yamaze essaawa satu namba ng’abakuba live lukobakulukoba ewatali kusirisaamu.
Ono yawerekeddwako muyimbi munne bwe bayimba ekika ky’enyimba ekimu Keneth Mugabi wamu n’omukubi wa Micheal Ouma.
Bayimbi banne okwabadde Dr.Jose Chameleone, Navio, Apass, Lydia Jasmine , Maro , Vampino n’abalala nabo bazze mu bungi okunyumirwa endongo.
Kirya Ng'ayimbira Abantu
Byana Biwala Nga Byesaze Obukette
Abadigize Nga Nyumirwa
Byana Biwala Nga Binyumirwa (1)
No Comment