Rwakajara alangiridde okusigukulula Baryomunsi
Dec 18, 2024
OMUBAKA w’abakozi mu Palamenti, Arinaitwe Rwakajara alangiridde okwesimbawo ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala bug-wanjuba mu kiseera kino ekirimu minisita w’ebyamawulire, Chris Baryomunsi.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
OMUBAKA w’abakozi mu Palamenti, Arinaitwe Rwakajara alangiridde okwesimbawo ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala bug-wanjuba mu kiseera kino ekirimu minisita w’ebyamawulire, Chris Baryomunsi.
Rwakajara yasinzidde mu nsisink-ano y’abakulembeze b’ebibiina by’abakozi mu ggwanga n’ababaka ba Palamenti abakiikirira abakozi eyabadde ku Serena Hotel mu Kampala, mwe baatudde okuloopera ababaka baabwe okusoomoozebwa abakozi kwe basanga n’okusala am-agezi butya bwe bakugonjoola.
Rwakajara yakakasizza nga bw’agenda okwesimbawo ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala bugwanjuba atuuse eddo-boozi ly’abakozi mu lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko. Yagambye nti ebimu ku byataddeko essira kwe kulwanyisa obuli bw’enguzi mu ofiisi za gavumenti, obutasasula bakozi, n’ebizibu ebirala.
Mu nsisinkano eno, abakulembeze b’abakozi baanokoddeyo ensonga eziruma abakozi omuli embeera embi abakozi mwe bakolera, oku-kozesebwa ng’obulogoyi, enguzi mu ofiisi n’okusaba ennongoosereza ku tteeka ly’abakozi, abakozi bakiikirir-we ku mitendera gy’obukulembeze gyonna okuli emiruka, divizoni, town council ne munisipaali. Minisita Justine Kasule Lumumba eyabadde omugenyi omukulu mu nsisinkano yaabwe, yabawadde amagezi oku-kunga bannaabwe beesimbewo mu Palamenti basobole okuweza enna-mba kino kibayambeko okwanguy-irwa okutuusa eddoboozi lyabwe.
No Comment