Bya Teopista Nakamya
ABABAKA bavudde mu mbeera ne bakyomera minisitule y'eby'obulamu lwa kubategeeza nti babadde tebamanyi nti abalwadde baggyibwako ssente za kativvi (sikaani).
Minisitule ng'ekulembeddwa minisita omubeezi oweby’obulamu, Anifa Kawooya Bangirana bwe baabadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti eggulo baawuniikirizza ababaka bwe babategeezza nti bakiwulidde gusooka nti abalwadde mu malwaliro ga gavumenti bababinika ebisale okubakebera endwadde ez’enjawulo nga bakozesa kattivvi (sikaani).
Ababaka okutabuka, kyaddiridde omubaka Betty Nambooze Bakireke era nga ye ssentebe w’akakiiko kano okulagira Kawooya abannyonnyole ku ssente eziggyibwa ku balwadde abakozesa kativvi nti kubanga zisusse obungi nga ziviiriddeko n’abamu okugenda mu malwaliro agatali ku mutindo.
Mu ddwaaliro lya Mukono Referral Hospital lyokka, yalaze nti abalwadde essente ezibaggyibwako ziri wakati wa mitwalo 50,000/- ne 150,000/- ky'agamba nti si kyabwenkanya.
Mu kwanukula, minisita Kawooya yategeezezza nti awulidde kipya mu matu ge, wabula n’agumya akakiiko nti bagenda ku kinoonyerezaako era n’olwensonga eyo baakuleeta etteeka erikirwanyisa.
Kino kyatabudde omubaka Agness Ameede (mukazi/Butebo districty) n’alumirizza minisita okwebuzaabuzza n’okubawudiisa ku nsonga z’amanyidde ddala obulungi .
Mu kakiiko ke kamu, ababaka baasabye minisitule eveeyo ku malwaliro ga gavumenti ageeyawuddemu ne gassaawo ag’obwanannyini munda, ge balaze nti gaviiriddeko bamufunampola obutafuna bwenkanya mu kufuna obujjanjabi.