Ssentebe w’eggombolola y’e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono, Rajab Ssentongo Mukasa yeekubidde enduulu eri omuduumizi w’ekibinja ky’amagye ki First Infantry Division, Maj. Gen. Steven Mugerwa ng’ayagala amutaase ku munnamagye atwala eby’obukessi mu bbendebendo lya Greater Mukono Lt. Col. Moses Ssegujja gw’agamba nti asusse okumuliisa akakanja.
Ssentongo nga mu kiseera kye kimu ye ssentebe wa NRM ow’eggombolola y’e Kasawo agamba nti Lt. Col. Ssegujja amaze ebbanga ng’amwogerako ebigambo omuli okumuyita omufere era bbulooka w’ettaka ssaako okumuteekako nga bw’alina emmundu n’ebyambalo by’amagye by’akozesa okunyaga ssente mu bantu nga bino agamba nti kalebule ataliiko mutwe na magulu.
Maj. Gen. Steven Mugerwa ng’atunuulidde Lt. Col. Moses SSegujja (ku ddyo mu ssaati ey’omweso) mu kafubo ne ssentebe Ssentongo n’abakulembeze abalala.
Okwekubira enduulu, ssentebe yabadde ayogera mu lukiiko lw’eby’okwerinda olw’ayitiddwa Maj. Gen. Mugerwa okulaba butya eby’okwerinda mu kitundu kino bwe biyimiridde naddala ng’eggwanga liri mu keetereekerero k’okulonda kwa bonna okwa 2026 okubindabinda.
Ng’abulako katono n’amaziga gamuyitemu, Ssentongo yagambye nti okumala emyaka egiwera, Col. Ssegujja azze amuliisa akakanja nga kuno kw’ateeka okumusibako ebigambo ebigendererwa okumusiiga enziro n’okumukkakkanya mu bantu b’akulembera.
“Omukulu oyo takoma okwo, ankubira amasimu ng’angamba nga bwe nnina okugenda ku State House e Nakasero mbu nnyinnyonnyole wa gye naggya emmundu n’eby’ambalo by’amagye! Nze mbaddenga nfuba kumutegeeza nti ndi mukulembeze, oyo yenna anjagala aggye asooke ayaze ewange oluvannyuma anoonyereze okuva mu bantu b’enkulembera sso si kumala ganyungako bisangosango,” bwe yannyonnyodde n’agattako;
“Nze nkooye embeera embi n’okuliira ku nsiko. Col. Ssegujja bw’aba ayagala kifo kye ndimu, aggye twesimbewo naye abantu balondeko gwe baagala!”
Ng’olukiiko luwedde, Maj. Gen. Mugerwa ng’ali n’abamu ku bakulu mu magye baagenze mu kafubo ne Lt. Col. Ssegujja ne ssentebe Ssentongo nga baamalirizza babasabye batuule ku mmeeza balabe bwe bagonjoola obutakkaanya bwabwe.
Wabula ng’ayogera n’ab’amawulire, Ssegujja yagambye nti tayinza kwekkiriranya na muntu gw’amanyidde ddala nti mumenyi wa mateeka era bangi abazze bamwemulugunyaako emyaka egiweze.
“Abakozi ba gavumenti bangi abakaaba Ssentongo olw’okubaggyangako ssente nga yeerimbise mu linnya lya ssentebe wa disitulikiti. Ate n’abatuuze b’akulembera bangi bamwekokkola,” bwe yagambye wakati mu butalambulula nnyo.