Ffuuti munaana ez'ettaka zitabudde abagagga b'omu Ndeeba

WABADDEWO akanyolagano wakati w’abagagga b'omu Ndeeba abagugulana olwa fuuti z’ettakka 8, buli omu zaalumiriza munne okuyingirira, abakubaganye poliisi  n’ebataasa .

Abantu abaleeteddwa okusimba emiti nga bali mu kanyoolagano
By Vivien Nakitende
Journalists @New Vision

WABADDEWO akanyolagano wakati w’abagagga b'omu Ndeeba abagugulana olwa fuuti z’ettakka 8, buli omu zaalumiriza munne okuyingirira, abakubaganye poliisi  n’ebataasa .

Olutalo lw’abagagga bano; Godfrey Muhiirwa Ssalongo  ow’ekizimbe kya Yamaha Center, alumiriza mugagga munne Stella Nannungi Bbosa ow’ekizimbe okuli Simba Automotive  ekyayitibwanga Bigways mu Ndeeba  okwezza fuuti ze 8, lwatandise  ku ssaawa 1 ey’okumakya golw’omukaaga.

Poliisi ng'eggyawo Nannungi

Poliisi ng'eggyawo Nannungi

Ismah Kakande omu ku baabaddewo  agambye nti,  Muhiirwa yakedde okuyungula  abayaaye ba kifeesi  okukuba ekibaati ku fuuti 8 zakaayanira ku  ku kizimbe kya Nannungi , ng’amulumiriza  nti yayingira mu ttakka lye nti era azze kweddizaawo  kubanga minisitule yeby’ettaka yamaze okupima n‘ewa alipoota ng’eraga nti akatundu ako nti kake (ka Muhiirwa).

Wabaluseewo  okulwanagana wakati wa  Muhiirwa n’abakozi ba  Nannungi , nga buli omu alemesa munne okuyingira ew’omulala. Muhiirwa yaleese  emiti gya kalittunsi okusimba ebikondo n’agiteeka mu kifo ekikaayanirwa, ebikonde webyatandikidde okunyooka, ng’abavubuka abamu balwanira ludda lwa Nannungi abalala lwa Muhiirwa, okukkakakana nga Muhiirwa bamumezze nebaggyawo emiti nebagizza ku kizimbe kye.

Mu kusoberwa nga n’abavubuka  baabadde aleese okukuba ekibaati  beefudde ne badda  ku ludda lwa Nanungi , Muhiirwa atandise okulonda ebiyinja okubikuba  abaabadde baaggyawo emiti, wabula abatuuze nabo baabadde ku ludda lwa Nannungi nebamulemesa okwongera okukola akavuyo, naayita poliisi emutaase.

Poliisi okuva  e Katwe etuuse,  Muhiirwa n’ataandika okusikambula abavubuka baalumiriza okumulemesa ng’abatwalira poliisi.

Ne mugagga munne Nannungi tamutalizza, amusikambudde okumutwala ku kabangali mu ngeri etyoboola,  naamusikambulako ne wiigi y’okumutwe ssaako okumusikambulako mask gyabadde ayambadde naagikasuka eri.

Abatuuze nabo baakoze olutalo ne balemesa poliisi okubaako omuntu yenna gw’etwala, Nannungi n’ababadde baakwatiddwa ne bateebwa, ng’abatuuze bagamba nti  Muhiirwa asussizza ejjoogo, buli bwabaako kyayagala akozesa maanyi n’akavuyo okukyezza, poliisi n’eddayo.

Oluvannyuma Nannungi  addukide ku poliisi e Katwe n’aggulawo omusango gw’okumukuba   n’okumuyisaamu amaaso, ng’ayagala Muhiirwa avunaanibwe. Ategeezezza nti,  atyoboddwa nyo ku lunaku lw’abakyala, Muhiirwa bwamuwemudde ebigambpo ebizito mu bantu awali n’abaanaabe,  ssaako okugezaako okumwambula n’okumukuba  mu nsonga ezikyali mu mateeka.

Alaajanide abeby’okwerinda  okumuyamba afune obwenkanya,  nti kubanga Muhiirwa yagala kumunyaga, akozesa ssente okuziteeka buli wamu okumunyigiriza, n’ategeeza nti  ensonga z’ettaka lino kkooti yeerina okuzimala sso ssi biwandiiko ebitaliiko sitampu by’atambuza.

Muhiirwa naye aweze nti, tajja kussa mukono okutuusa ng’akatundu ke kamuddidde naakakozesa, nti Nannungi bw’aba ayagala akagule, nti era naye mwetegefu okuva mu katundu keeyazimbamu emabega w’ekizimbe kye akaalagiddwa nti yaakayingiramu.

Ettakka lino lisangibwa mu Ndeeba mu  gombolola y’e Lubaga,  liri ku Plot 302.90.91.92 ne  Block 7 . Abagagga bano bazze bagugulana okuva omwaka oguwedde  2024, Muhiirwa bweyavaayo n’ategeeza nti Nannungi yaayingirako ewuwe fuuti 8.