Bennyamidde olw’abawala abasobezebwako okweyongera

Oct 24, 2023

ABEEBYOKWERINDA ne bannabyanjigiriza e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono bennyamidde olw’omuwendo gw’abawala abasobezebwako n’abafuna embuto nga bakyali bato ogweyongera mu kitundu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABEEBYOKWERINDA ne bannabyanjigiriza e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono bennyamidde olw’omuwendo gw’abawala abasobezebwako n’abafuna embuto nga bakyali bato ogweyongera mu kitundu.

Bategeezezza nti okusingira ddala, abavuzi ba bodaboda n’abasomesa be basinze okwegiriisiza ku baana abato ne balabula abazadde okufaayo ennyo okulondoola abaana baabwe.

Bino byatuukiddwaako mu lukiiko lw’abazadde, amyuka RDC w’e Mukono, Mike Ssegawa lwe yatuuzizza ku ssomero erya bonnabasome erya St. Andrew’s Seed SS erisangibwa e Ndwaddemutwe mu ggombolola y’e Kimmenyedde.

Omukulu w’essomero lino, Nathan Kigongo yasoose kutegeeza bazadde nti olw’okuba abayizi abasinga bava waka okugenda ku ssomero, bafunye ekizibu olw’abavuzi ba bodaboda abagufudde omugano okwegiriisiza ku bayizi nga n’abamu bafunye embuto ne batuuka okuzaala baana bannaabwe nga bakyasoma.

Kigongo yayogedde ku muyizi eyafuna olubuto nga mu kiseera kino yazaala balongo.
“Tulina essuubi nti omuyizi waffe ono bw’anaamala okuyonsa anaakomawo ku ssomero n’asoma. Wabula kyo ekizibu kye tulina kinene nnyo,” bwe yategeezezza.

Marion Abbo, akulira poliisi y’e Nakifuma yagambye nti nga poliisi baliko emisango gy’okusobya ku baana egiwerako gye babuulirizaako.

Abbo yasabye abazadde okufissizaawo abaana obudde boogere nabo ku nsonga z’obutamala gatwaliba basajja babalimbalimba kuba bangi bafunye embuto n’endwadde z’ekikaba.

Omwogezi wa poliisi Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti poliisi eri ku muyiggo gw’omukulu w’essomero lya Grace Day Care and Orphanage P/S e Nanga mu Kimenyedde, Jolly Joe Otim ng’avunaanibwa gwa kusobya ku muyizi we owa P7 n’amufunyisa n’olubuto.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});