Eddwaaliro ly’e Mbale likutte kisooka mu gasinga okujjanjaba

Dec 14, 2023

AMALWALIRO okuli; Mbale, Hoima, St. Mary’s Lacor ne Masaka galangiriddwa ng’agasinga okufaayo ku balwadde okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa minisitule y’ebyobulamu.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

AMALWALIRO okuli; Mbale, Hoima, St. Mary’s Lacor ne Masaka galangiriddwa ng’agasinga okufaayo ku balwadde okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa minisitule y’ebyobulamu.
Dr. Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule bwe yabadde atongoza lipooti ekwata ku byobulamu ey’omwaka 2022/2023, yagambye nti amalwaliro baagasengese nga basinziira ku birina okukolebwa eddwaaliro.
“Eddwaaliro eriri ku mutendera gwa Regional Hospital lisuubirwa okuba nga liwa obujjanjabi obusinga ku Hospital oba Health Centre IV. Tutunuulira obungi bw’abantu abalongoosed-dwa, obujjanjabi bwe bagaba ku ndwadde ez’enjawulo nga sukkaali
ne puleesa,” Mwebesa bwe yagambye.
Okusengeka amalwaliro kyakoleddwa okukakasa nti abalwadde bafuna obujjanjabi bwe
basuubira mu malwaliro. Amalwaliro 21 agaasinze mu ggwanga nga bwe gagoberagana
kuliko; Mbale Regional Referal Hospital, Hoima Regional Regional Hospital, St. Mary’s Hospital Lacor, Masaka Regional Hospital, Arua Regional Referal Hospital,
Lira Regional Referal Hospital, Lira RRH, Fort Portal RRH, Jinja RRH, St Francis Nsambya Hospital, Mubende Regional Referal Hospital.
St. Kizito Matany Hospital, Gulu RRH, Kabale RRH, Kayunga RRH, Mbarara RRH, Mengo Hospital, Moroto RRH, Lubaga Hospital, umbe RRH, Entebbe RRH ne
Soroti RRH. Lipooti yalaze nti endwadde eza bulijjo ezitera okukwata abaana ng’ebifuba, ssenyiga, omusujja gw’ensiri n’okusesema bitta abantu abawera 10 ku 100. Zino endwadde ziddirirwa omusujja gw’ensiri (7 ku 100), ‘pneumonia’ (5 ku 100), anaemia, endwadde eziva ku bidduka n’ebirala. Minisita w’ebyobulamu, Dr.
Jane Ruth Aceng yagambye nti okweyongera kw’ebyobulamu kuvudde ku maanyi ge bataddemu nga bali n’ebitongole by’obwannakyewa n’amalwaliro g’obwannannyini.
Aceng yasabye abasawo okukolera mu mbeera gye balimu kuba  wadde bandyagadde okubongeza emisaala naye ssente tewali. Ku muwendo gw’abasawo abalabika ng’abatono yagambye nti tebalina kye bayinza kukola kuba tebakyayingiza basawo bapya okuggyako okujjuza ebifo by’ababa bavuddewo. Dr. Mwebesa yagambye nti ebintu bingi ebiraga nti ebyobulamu byeyongeddeko mu ggwanga, wadde nga waliwo we batakoze bulungi nga mu kugemesa abantu endwadde. Kyokka kino basuubira okukigonjoola nga bakolera wamu ne disitulikiti

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});