Pookino akoze enkyukakyuka mu baami abakulembera ebitongole e Buddu
Dec 28, 2023
OMWAMI wa Kabaka akulembera essaza lya Buddu, Jude Muleke akoze enkyukakyuka mu baami abakulembera ebitongole nga muno asuumuusirizzaamu abaami bataano ne baweebwa obuvunaanyizibwa okumukulembererako ebitongole ebyenjawulo mu ssaza lino.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Bya Richard Kyanjo
OMWAMI wa Kabaka akulembera essaza lya Buddu, Jude Muleke akoze enkyukakyuka mu baami abakulembera ebitongole nga muno asuumuusirizzaamu abaami bataano ne baweebwa obuvunaanyizibwa okumukulembererako ebitongole ebyenjawulo mu ssaza lino.
Enkyukakyuka zino Pookino yazirangiriridde mu lukiiko lw’abakulebeze b’Essaza lino oluggalawo omwaka olwatudde ku kitebe ky’essaza mu kibuga Masaka.
Abaaweereddwa obwami kuliko; Fred Kivudde nga wabyamaulire, Monday Ssemakula wa byamateeka, Vianney Ndugga wa byabusuubuzi, John Kisawuzi ow’ekikula ky’abantu ne Milly Namugenyi ow’abavubuka.
Abatakyusiddwa ye; Payito Yiga, Rose Nalubowa ne Hajji Abdullah Kato abasigadde nga be bamyuka ba Pookino, Bello Kasumba ye mukubiriza w’olukiiko, Badru Kagga wa Bulungibwansi, Richard Musisi wa baliko obulemu ne Joseph Kizito Kawonawo wa byattaka.
Pookino yakubirizza abaami abalondeddwa okufaayo okumanya ennono z’Obwakabaka, okujjumbira enkiiko, okwewa ekitiibwa awamu n’okufuba okuteekawo enkyukakyuka mu buweereza bw’ebitongole ebibaweereddwa okuweerezaamu kiyambe essaza lino n’Obwakabaka okugenda mu maaso.
Ono era yabakuutidde okwebuuzanga ku bakulembeze ab’enjawulo nga bakola obuweereza bwe balondeddwaamu kibayambe okufuna ebirowoozo ebyenjawulo okusobola okusalawo obulungi n’abasaba okukola nga bakirina mu bwongo nti buno buweereza bwa kiseera.
Ku lw’abaaweereddwa obwami, Fred Kivudde yeeyanziza Ssaabasajja okubalondobayo okuweereza Obuganda ne yeeyama nti baakuteeka obuyiiya n’obumalirivu mu buweereza obubaweereddwa obutamuswaza.
No Comment