POLIISI enywezezza omusajja eyawummuza ekibookisi ku ssundiro ly’amafuta ku Ben Kiwanuka ne kivaako akasattiro mu bantu nga balowooza nti bbomu.
Rafeal Kalema ye yakwatiddwa oluvannyuma lw’okutwala ekibookisi n’akiwummuza ku ssundiro ly’amafuta erya Total ku Ben Kiwanuka okumpi ne Shoprite ku Lwokutaano ne kivaako akasattiro n’okuggala oluguudo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti ku Lwokutaano poliisi yayitibwa n’eggala oluguudo lwa Ben Kiwanuka ng’abantu beekengedde ekibookisi kino nti mwandibaamu bbomu. Yagambye nti abaserikale abategulula bbomu baatwala ekibookisi kino, olwo poliisi ya CPS n’etandikirawo okunoonyereza eyakiteekawo. Baazuula ebifaananyi bya kkamera z’oku luguudo ne biraga Kalema era poliisi n’eddayo mu kitundu kino n’eraga abantu ebifaananyi nga be baagudde ku Kalema ku Good Shade ne bamutwalira poliisi ya CPS. Wabula Kalema yagambye nti ku Lwokutaano yalonda ebibookisi n’asalawo okubiwummuza ku ssundiro lya Total n’agenda mu katale ka St. Balikuddembe alye emmere kuba mu katale k’e Nakasero gy’atundira bbiring’anya emmere bagiseera. Yagambye nti bwe yamaliriza okulya ate n’agenda ne munne mu katale ka USAFI n’atasobola kunona bibookisi bye. Onyango yagambye nti poliisi ekyanoonyereza ku Kalema eyagambye nti abeera mu Kakajjo zzooni mu Kisenyi