POLIISI e Moroto ne Kotido ekutte n'eggalira bannansi b'eggwanga lya Eritrea 49 nga bagezaako okuyingira mu Uganda mu bukyamu.
Abakwatiddwa kuliko;, baweereddwayo mu bitongole by'abavunaanyizibwa ku bantu bayingira mu ggwanga okwongera okubaako bye bababuuza .
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga , agambye nti mulimu abaami 11, abalenzi 7, abakyala abakulu 28 n'abawala basatu era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.