Omukazi omulala asangiddwa mu kazigo ng'attiddwa mu ntiisa e Ssembabule!

Jan 17, 2024

Omukazi omulala e Sembabule asangiddwa mu nju ng’attidwa n’aweza omuwendo gwa bakazi 3 abattiddwa mu kitundu kye kimu.

NewVision Reporter
@NewVision

Omukazi omulala e Sembabule asangiddwa mu nju ng’attidwa n’aweza omuwendo gwa bakazi 3 abattiddwa mu kitundu kye kimu.

Promise Najjuuko,30, abadde omutuuze mu market zzooni, mu tawuni kkanso y’e Ssembabule kyokka nga kigambibwa nti yava Kawoko mu Ssembabule, ye yasangiddwa nga mufu nga n’omulambo gwe guli mu nnyumba.

Omuzigo Omukazi Mwe Yafiiridde.

Omuzigo Omukazi Mwe Yafiiridde.

Kiteeberezebwa okuba nti ono yattibwa mu kiro ekyakeesa eggulo bw’atyo n’afuuka omuntu owookusatu okuttibwa mu kitundu ekyo.

Abatuuze balaze okutya olw'ettemu erisusse mu kitundu kino ne basaba gavumenti okuvaayo ebataase. Bongedeko nti bukya abakazi bano batandika kuttibwa, abeebyokwerinda tebavangayo kubabuulira kituufu ekibatta.

Bongeddeko nti amasannyalaze okuvaavaako e Ssembabule kye kimu ku bivuddeko obumenyi bw'amateeka okweyongera.

Abatuuze nga bakung'aanidde ku muzigo omwafiiridde omukazi ono.

Abatuuze nga bakung'aanidde ku muzigo omwafiiridde omukazi ono.

Sentebe wa tawuni kanso y'e Ssembabul,e Jude Kasekende yagambye nti bandiwalirizibwa okuggala ebifo abakazi bano we babeera kuba etemu lisusse.

Kasekende asabye ab'ekitongole ky’amasanyalaze okukyusa mu nkola yaabwe.  Poliisi ezze n’embwa yaayo enkonzi y’olusu kyokka mpaawo ky’ezudde.

Poliisi N'embwa Enkozi Y'olusu Ng'enoonya

Poliisi N'embwa Enkozi Y'olusu Ng'enoonya

Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno, Faisal Seruwajji agambye nti ekimu ku kiyinza okuba nga bye kivuddeko ettemu lino be bakyala bano oluusi okukuula abasajja ssente, nabo ne basalawo okukomawo babakoleko obulabe.

Yagambye nti bagenda kwongera okunoonyereza ku nsonga eno bawalirize ne bannannyini mayumba gano okussaako kkamera.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});