Ebizuuse ku mmaali y’Obusiraamu ewa Bakuli eyatundiddwa Mufti Mubajje
Jan 23, 2024
EBIPYA byongedde okuzuuka nga biraga nti emmaali y’Obusiraamu ewa Bakuli eyatundiddwa ekitebe ky’Obusiraamu mu bantu ab’enjawulo ekaayanirwa abantu ab’enjawulo omuli ne ffamire ya Walusimbi Mpanga eyali mmeeya wa Kampala omuddugavu eyasooka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
EBIPYA byongedde okuzuuka nga biraga nti emmaali y’Obusiraamu ewa Bakuli eyatundiddwa ekitebe ky’Obusiraamu mu bantu ab’enjawulo ekaayanirwa abantu ab’enjawulo omuli ne ffamire ya Walusimbi Mpanga eyali mmeeya wa Kampala omuddugavu eyasooka.
Ffamire ya Walusimbi Mpanga egamba nti erina obwannannyini bwa myaka 99 ku ttaka lino erisangibwa ewa Bakuli okuliraana omulyango gw’essomero lya Old Kampala Primary School.
Ku poloti zino kuliko ebizimbe bya kalina (fulaati) ebiwandiikiddwaako ebigambo by’Olungereza ebitegeeza nti tezitundwa (This Property not for sale).
Ettaka lino essava, Mufti Shaban Mubajje n’eyali Ssaabawandiisi wa UMSC, Hajji Ramathan Mugalu lye baaguza abantu basatu ab’enjawulo oluvannyuma lw’okulyawulamu ebyapa.
Plot 399 esangibwa ku block 2, eno Mubajje ne Mugalu baagiguza omugagga Hassan Mugoya.
Plot 401 esangibwa ku block 2, eno baagiguzizza Madinah Nassali. Plot 400 esangibwa ku block 2 baagiguzizza kkampuni ya Zala Universal Investments Ltd.
BALEESE BWINO
Yakobo Musoke Senyange azaalibwa omugenzi Clement Musoke alina ettaka eririraanye ettaka erikaayanirwa, yagambye nti baakula bamanyi nti wa kitaabwe, wabula nga tebalimirawo nga poloti ejjuddemu ovacado n’enkenene.
Wakati wa 1968-69, mmeeya Walusimbi Mpanga yajja n’ategeeza kitaabwe nga bwe yali afunyeewo liizi ya myaka 99 okuva ku Abdallah Nsaamu eyali nnannyiniwo era n’amulaga ebiwandiiko.
Mpanga oluvannyuma yapangisa Abayindi ku fulaati ze kye kyaleeta Abayindi okusala ekkubo ne badda ku ludda olwaliko abaddugavu kuba okusooka tewaali asala era ekkubo eribaawula kye bava baliyita Nsalo Road.
Senyange yagambye nti Nsaamu oluvannyuma yafa ne bamuziika e Luweero nga yaleka abaana bana nga bonna bawala. Kye yamanyaako Nsaamu yali waaluganda ne Ssenseko Kulubya.
Abayindi ba Ismailia bwe baali bagenda mu 1972, oluvannyuma lw’okugobwa Pulezidenti Idi Amin, ebyobugagga byabwe ebyenjawulo ebiwera 700 baabireka mu mikono gya UMSC egire ng’ebirabirira.
EYALI SSENTEBE ABYOGEDDE
Mukasa Senyange eyali ssentebe wa LC 1 owa Jambula zzooni mu muluka gw’e Bukesa okuva mu 1986 okutuusa mu 2018 yagambye nti ekitebe ky’Obusiraamu ekya
UMSC kyamala ebbanga nga kye kirabirira ebyobugagga by’Abayindi aba Ismailia okutuusa Gavumenti lwe yabaddiza ebintu byabwe era ne wajjawo Omuyindi ayitibwa Albhai eyategeeza nti banne baali bamuwadde obuvunaanyizibwa okulabirira ebintu byabwe.
Eyali Mufti Sheikh Saad Ibrahim Luwemba yawandiikira LC ebbaluwa ng’abategeeza nga fulaati UMSC ze yali eddukanya bwe yazizzaayo ew’Abayindi.
Kyokka ekyewuunyisa ate bagenda okuwulira oluvannyuma mu 2018, nga UMSC egamba be bannyini ttaka abatuufu nga balumiriza nti baaligula ku Nsaamu ekintu kye bawakanya.
“Ffamire ya Nsaamu yatutuukirira n’etulaga ebiwandiiko ebiraga nti be bannyini ttaka. Ffamire ya Mpanga nga bakulemberwa nnamwandu nabo bajja ne batulaga ebiwandiiko ebiraga nti baafuna liizi ya myaka 99 okuva ewa Nsaamu ku ttaka lye limu era omusango guli mu kkooti,” Mukasa bwe yagambye.
ABA UMSC BANNYONNYODDE
Haji Ramathan Mugalu eyali Ssaabawandiisi wa UMSC yagambye nti ettaka eryo lya kitebe ky’Obusiraamu kuba be baaligula ku mugenzi Abdallah Nsaamu.
Kyokka waliwo abaali bakyusizza ebiwandiiko nga balaga nti lyabwe. Nga bayita mu mateeka baatereeza ekyapa ne kiddayo mu mannya ga UMSC era be bazze bagabirako abantu liizi ez’enjawulo.
Omwogezi wa UMSC, Ashiraf Ziwa Muvawala yagambye nti ettaka lya UMSC era be baagabirako abantu ab’enjawulo liizi.
Yajjukizza Bannayuganda nti ekitebe ky’Obusiraamu kikkirizibwa okugula n’okutunda ebintu byakyo mu mateeka era buli ekikolebwa olukiiko olufuzi lusooka kukikkiriziganyaako.
No Comment