BUKEDDE WA MMANDE ALIMU EBIKULU BINO BY’OTOSAANA KUSUBWA
Tukulaze enkalu abazadde ze basanze mu kuzzaayo abayizi ku masomero. Abakulira amasomero bataddewo kiremya ku batannamalayo ffiizi.
America ekubye enfo za Iran 121 mu ssaawa 24 zokka era owa Iran akola pulaani ya kwesasuza.
Mulimu omukazi akwatiddwa ku by’okujingirira ebbaluwa z’obufumbo ku Munnayuganda eyafiira mu Bungereza.
Omuzadde alina omuyizi mu P6 ne P7 bamuteereddemu Study Material okutandika okwetegekera omwaka nga bukyali.
Tosubwa Gavumenti by’erangiridde okukola okulwanyisa Kalusu azinzeeko amagana mu disitulikiti ezisoba mu 35.
Mu Byemizannyo: Tukulaze ttiimu ezituuse ku semi z’ekikopo kya Africa bwe ziri mu kweswanta okutwala ekikopo. Ate Man City erumbye Brentford ng’ewaga.
Gano n'amalala mu Bukedde wa Mmande agula 1,000/- zokka.