Abatuu ze ku kyalo Nakaseeta mu muluka gwe Kabatema mu ggombolola y’e Kaliro Rural mu disitulikiti y’e Lyantonde baguddemu entiisa, mutuuze munnaabwe Lydia Mbabazi
bw’akkakkanye ku mwana we ow’emyaka 8, Olivia Kekyikaari n’amukuba emiggo egimusse.
Abamu ku batuuze bategeezezza nti Mbabazi aludde ng’atulugunya abaana nga ne muwala we omukulu, Shakira Nakayiza yadduka awaka n’afumbirwa ng’akyali muto. Omu ku batuuze, Emmanuel Ssendikaddiwa agamba nti yawulidde nga Mbabazi akuba omwana n’ajja n’agezaako okutaasa n’alemererwa ekyaddiridde kuwulira nti omwana amusse. Ate omutuuze Charles Jingo agamba nti baaloopako Mbabazi ku poliisi n’etefaayo. Ye Nakayiza yagambye nti maama we yamukubidde essimu ng’amutegeeza okutwala muto we mu ddwaaliro nti baamutomedde nti naye baabadde bamutwala n’afiira mu kkubo. Poliisi yazze n’eggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Kasambya.
Mbabazi yakwatiddwa ng’akuumirwa ku poliisi y’e Lyantonde, okusinziira ku ayogerera poliisi mu bitundu by’e Masaka, Twaha Kasirye