Amawulire

Ab’amasaza basabiddwa okukuuma ebintu bya Buganda

MINISITA owa gavumenti ez’ebitundu n’entambula ya Kabaka, Joseph Kawuki akuze abaami b’amasaza okukuuma ebintu by’amasaza gaabwe wamu n’ebya Buganda byonna nga bali mu buweereza.

Minisita Joseph Kawuki (ku kkono) ng’akwasa Nantagya emmotoka eyamuweeredwa Ssaabasajja okumusiima.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA owa gavumenti ez’ebitundu n’entambula ya Kabaka, Joseph Kawuki akuze abaami b’amasaza okukuuma ebintu by’amasaza gaabwe wamu n’ebya Buganda byonna nga bali mu buweereza.
Yabyogeredde ku mbuga y’essaza ly’e Ssingo mu Mityana ku Lwokutaano, ng’atuuza abaami b’essaza abaalondeddwa. “Okukuuma ebintu by’essaza n’ebya Buganda, bwe bumu ku buvunaanyizibwa bwe mulina okutuukiriza,” bwe yagambye. Kawuki yakunze abaami abaatuuziddwa okubeera abamaanyi, abeebuuza ate abeegendereza mu buweereza
bwabwe. Abadde Mukwenda, David Nantagya yawummuziddwa n’asikirwa Deo Kagimu
ate n’omumyuka we, Noah Kantunsimbi naye n’asikirwa Stephen Jjumba. Minisita Kawuki yakwasizza abaawummudde amabaluwa agabasiima era Nantagya n’aweebwa n’ekirabo ky’emmotoka gy’abadde akozesa ey’essaza eyamukwasiddwa
Minisita Kawuki.
Nantagya yasiimye Bannassingo olw’okukolagana obulungi naye. Mukwenda Kagimu yasuubizza okukola nga teyeebalira.