Amawulire

Namwandu omulala avuddeyo ku yaaya eyawambye amaka

EBYA yaaya eyawambye amaka n’asibira mukama we ebweru byongedde okulanda. Omukazi omulala avuddeyo ng’agamba nti naye nnamwandu. Florence Kababiito Gwejungu, yavudde mu disitulikiti y’e Kamwenge ng’agamba nti amaka agakaayanirwa mu kaseera kano naye agalinako omugabo kuba ye yagasookamu era baagazimba ne bba Gwejungu, kati omugenzi.

Namwandu omulala avuddeyo ku yaaya eyawambye amaka
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EBYA yaaya eyawambye amaka n’asibira mukama we ebweru byongedde okulanda. Omukazi omulala avuddeyo ng’agamba nti naye nnamwandu. Florence Kababiito Gwejungu, yavudde mu disitulikiti y’e Kamwenge ng’agamba nti amaka agakaayanirwa mu kaseera kano naye agalinako omugabo kuba ye yagasookamu era baagazimba ne bba Gwejungu, kati omugenzi.
Bino biri ku kyalo Nakinyuguzi mu Luwafu mu munisipaali y’e Makindye mu maka ga Gwejungu, eyaakamala emyezi ebiri ng’afudde. Yaaya w’awaka, Prossy Namata 50, ye yasoose okweddiza amaka n’asibira omukyala omukulu Evelyn Gwejungu ebweru ng’agamba nti tebayinza kumugobaganya kubanga mu kiseera omugenzi w’afiiridde, nga mukyala we era babadde bamaze emyaka 25 mu bufumbo.
Kababiito eyatuuse mu maka gano ku nkomerero ya wiiki ewedde, yagambye nti bba we yamukwanira yali abeera Nakulabye era mu kumukwana yamutegeeza nti alina omukyala omukulu e Kabaale.
“Twasooka kupangisa e Nakulabye oluvannyuma ne tugula e Makindye nga baze amaze okufuna ku ssente. Twazimba ennyumba eyo era nze nasooka okugibeeramu. Baze bwe
yangulira ettaka e Kamwenge, n’anzimbirayo n’ennyumba kwe kusenguka era gyendi kati,” Kababiito bwe yannyonnyodde. Yagasseeko nti, awaka abadde ajjawo era lumu bwe yajja n’asangawo Namata, olwo bba n’amutegeeza nga bw’ali mukazi munne. “Yahhamba nti yasalawo okuwasa kubangamukyala mukulu abeera Kabaale ate nga nange mbeera Kamwenge, kwe kuwasa omukyala w’e Kampala aleme kuwankawanka,” Kababiito bwe yagambye.
Kababiito yayongeddeko nti mukyala mukulu byonna abadde abimanyi era yeewuunyizza ate okuyita Namata yaaya, so nga n’amaka g’akaayanira abadde tagalinnyangamu. Namata eyasangiddwa awaka yagambye nti alina okufuna ku mugabo kuba omugenzi abadde bba ate nga ne ssemateeka alagira nti omuntu bw’aba afudde
ne munne ng’amulabirira, bw’afa alina okubaako ky’agabana