Amawulire

Pasita agasimbaganye n’omukazi amulumiriza okumuzaalamu abaana n’abeegaana

PASITA Stephen Ssekatoogo agasimbaganye ne mukazi we Scovia Kyomuhendo amulumiriza okumuzaalamu abaana basatu ne yeeganako ababiri ne beerangira ebisongovu.

Pasita Ssekatoogo (ku kkono) ne Scovia Kyomuhendo (ku ddyo) nga beerangira ku kkooti e Nakawa. Wakati ye Sentebe Tomusange.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PASITA Stephen Ssekatoogo agasimbaganye ne mukazi we Scovia Kyomuhendo amulumiriza okumuzaalamu abaana basatu ne yeeganako ababiri ne beerangira ebisongovu.
Basisinkanye ku kkooti e Nakawa, Ssekatoogo n’alumiriza Kyomuhendo okwagala okumwonoonera erinnya n’okwagala okutwala ebyobugagga bye. Ssekatoogo yaddukira mu kkooti e Nakawa oluvannyuma lwa Kyomuhendo okumulumiriza okwegaana abaana be yamuzaalamu nga baatuuka n’okugenda ku DNA eyalaga nti ku baana abasatu Ssekatoogo alinako omu. Wabula kino Kyomuhendo yakiwakanya n’agamba nti abaana bonna yabazaala mu pasita nti wabula pasita yakola olukujjukujju ne bakyusa ebyava mu musaayi.
Bwe baagasimbaganye ku kkooti, Kyomuhendo alangidde Ssekatoogo okumupangisiriza ennyumba etonnya. Ennyumba eno esangibwa mu Kirombe mu minisipaali y’e Makindye. Kyomuhendo era ayagala okuddayo ku musaayi kubanga akakasa ng’abaana bonna ba pasita wadde ng’abeegaana. Sekatoogo yakkirizza okuddamu okukebera abaana wabula n’assaawo akakwakkulizo nti Kyomuhendo y’alina
okusasula, nti ate bwe bivaayo nga ddala abaana si babe, tajja kuddamu kubalabirira.
Omutabaganya wa kkooti e Nakawa, Eli Kataswa yawulirizza ensonga zaabwe ne yeegattibwako omukaba wa Nakawa East, Ronald Balimwezo ne Kansala wa Nakawa
II Innocent Tegusulwa abaagezezzaako okukkakkanya Ssekatoogo ensonga zigonjoolebwe wabweru wa kkooti wabula ne yeerema nti ayagala kkooti y’eba abalamula