Ssekikubo ne banne bawaddeyo ekiwndiiko kyabwe ewa Kalaani wa Palamenti
Aug 05, 2024
KYADDAKI ababaka abafungiza okufuumula ba kamisoona ba palamenti abana bawadde kalani wa palamenti ekiwandiiko okulaba nga ensonga yaabwe eretebwa mu palamenti okutesebwako

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
KYADDAKI ababaka abafungiza okufuumula ba kamisoona ba palamenti abana bawadde kalani wa palamenti ekiwandiiko okulaba nga ensonga yaabwe eretebwa mu palamenti okutesebwako.
Bano okuli omubaka w’e Lwemiyaga Theodare Ssekikubo, Sarah Opendi (Mukyala ow’e Tororo), Joseph Ssewungu (Kalungu West), Isaac Otimgiw (Padyere County), Alion Yorke Odria (Aringa South), n’abalala leero basoose mukafubo akawulungudde essaawa eziri eyo mu ssatu n’omusobyo nga bateekateeka kiwandiiko kyabwe kwosa amanya wakati nga bannamawulire balinze okubawa ekiddako.
Bano batudde ku kizimbe kya Development House okuliraana palamenti era essawa zibadde mu kkumi ne beesogga palamenti era eno bamazeeyo akabanga nga bwebeetala nga bannamawulire balabye guli gutyo kwekubuuza omu ku bbo (Opendi) kiki ekibalwisiza okwanja ensonga.
Sarh Opedi ng'ava mu nsisinkano eyakafubo ne ba ssekikubo
Ssekikubo agambye bulijjo ekibawuuba okumala emyezi esatu kati kiwedde, kubanga kalaani wa palamenti Adolf Mwesige akakkasiza ekiwandiiko kyabwe okuli emikono 189 n'agamba nti sipiika alina ennaku 14 okuva leero okuyita palamenti.
Ssekikubo era agambye nti ba kamisoona bwebaba bagezi balekulire baleme kulinda bidirira kubanga bbo obujjulizi balina obumala.
Ye omubaka Ssewungu agambye nti ekibatuyanyiza ebbanga lino lyonna bakimaze era nasekerera ababadde baberagirako nti ekintu kino kigenda kubatulamu naweera nti obuwanguzi buli gyebali kati.
Omubaka Otimgiw agambye nti ba kamisoona n’abamu ku batwala palamenti babadde babatiisatiisa wabula wakati mu mbeera eyo tebekubye basigadde ku mulamwa nti bbo abalonzi baabwe bebabatuma okubakikirira nga bebajja okubakomyawo mu palamenti.
No Comment