Kitalo! Omuvubuka alumbye maama w'omwana we gye yanobera n'amutemako omutwe

Sep 09, 2024

Ekikangabwa kigudde e Makindye, omuvubuka bw'alumbye maama w'omwana we gye yanobera, n'amutemako omutwe ne gugwa wali naye abantu ne bamukakkanako ne bamutta.

By Godfrey Kigobero
Journalist @New Vision

Ekikangabwa kigudde e Makindye, omuvubuka bw'alumbye maama w'omwana we gye yanobera, n'amutemako omutwe ne gugwa wali naye abantu ne bamukakkanako ne bamutta.

Bibadde mu zzooni ya Jjuuko e Makindye mu Kampala, omuvubuka Kude ali wakati w'emyaka 20 ne 25 , bw'alumbye Sharon Rukundo 19, n'amutemera mu kawooteeri ka mukama we mw'abadde akolera, n'amutta.

Omu ku booluganda lw'omuwala gwe basse ng'ayaziirana.Ekifaananyi kya Benjamin Ssemwanga.

Omu ku booluganda lw'omuwala gwe basse ng'ayaziirana.Ekifaananyi kya Benjamin Ssemwanga.

Kigambibwa nti bano , babadde bonna okumala emyaka ebiri era nga babadde balina omwana omu kyokka nga baafuna obutakkaanya ne baawukana, omuwala kwe kugenda ewa ‘aunt’we okukola.

Abatuuze nga bakwatiridde okulaba ogubadde. Ekifaananyi kya Benjamin Ssemwanga.

Abatuuze nga bakwatiridde okulaba ogubadde. Ekifaananyi kya Benjamin Ssemwanga.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti ,Kude , asoose kukubira Aunt wa Sharon Ssimu , ng'atiisa nga bw'abadde agenda okubalumba akolewo akatiisa era wayise akaseera katono nnyo n'atuuka n'amutema.

Onyango agasseeko nti emirambo gyombi, gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago okugyekebejja ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});