Amawulire

TOTO Magazine ecamudde abaana mu ghetto

Abayizi abasoba mu 60 baabugaanye essanyu bwe bafunye obutabo bwa TOTO magazine nga buno bufulumira mu lupapula lwa New Vision buli Lwakusatu.

Abaana ba Ghetto nga basoma Magazine ya Toto
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Abayizi abasoba mu 60 baabugaanye essanyu bwe bafunye obutabo bwa TOTO magazine nga buno bufulumira mu lupapula lwa New Vision buli Lwakusatu.

Abasinga guno gwe gubadde omulundi gwabwe ogusoose okukwata ku katabo kano. Basomye ebigambo mu Lungereza nga bwe bakuba n’okusiiga ebifaananyi.

Bino bibaddewo ku Lwomukaaga nga September 21, 2024 ku ssomero lya Creative Infant school erisangibwa mu ghetto ya Naguru Go down mu divizoni y’e Nakawa mu Kampala.

Abaana ba Ghetto nga bali n'aba Lions Club

Abaana ba Ghetto nga bali n'aba Lions Club

Obutabo bwaweereddwaayo Vision Group nga bali wamu ne Lions club of Kampala East abali mu kaweefube w’okumalawo obutasoma mu baana.

Bannakkiraabu basoose kugabula bayizi ekyemisana okwabadde pilaawo, ebijanjaalo ne sooda. Oluvannyuma buli mwana bamugabidde sabbuuni, ebitabo, bbayiro ne sseeti. Abawala baafune ne ppaadi.

Omukulu w’essomero Moses Tukei, yeebazizza aba Lions club olw’omutima omugabi n’agamba nti abayizi baabwe abasinga bava mu maka maavu ng’ebiseera bingi basula njala olw’abazadde baabwe okubulwa ekyokulya. Yayongeddeko nti era bangi bajja ku ssomero nga tebalina yadde ebitabo.

Sharon Munanura akulira Lions new voices yabuuliridde abayizi okubeera n’empisa, okuwa abantu ekitiibwa n’okwewala emikwano egiyinza okuboonoona ne balemwa okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.

Lions club kitongole kya nsi yonna ekigatta abantu abeenyumiriza mu kuyamba abali mu bwetaavu.

Mu Uganda mulimu kiraabu 54 ng’eya Kampala East ekulirwa Hildah Mugenyi. Agamba nti essira baliteeka nnyo ku kulwanyisa enjala, obulwadde bwa sukaali, kkansa mu baana n’okukuuma obutonde bw’ensi. Era bafa nnyo ne ku maaso, okukulaakulanya abavubuka n’okumalawo obutasoma mu baana.

Tags: