Omujaasi ne banne 6 bali ku gwa kubba mmotoka ya poliisi
Oct 01, 2024
OMUJAASI wa UPDF Pte Ivan Acellem agambibwa okwekobaana ne banne 6 ne babba emmotoka ya poliisi yalaajanidde mu kkooti okumutaasa obutamusindika mu kkomera kuba bagenda kumugoba mu magye.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
OMUJAASI wa UPDF Pte Ivan Acellem agambibwa okwekobaana ne banne 6 ne babba emmotoka ya poliisi yalaajanidde mu kkooti okumutaasa obutamusindika mu kkomera kuba bagenda kumugoba mu magye.
Acellam 21 nga mujaasi wa UPDF mu nkambi y’e Kakiri yalaajanidde mu maaso g’omulamuzi Frank Namanya owa kkooti ento e Nakawa amuyambe amuyimbule okuva mu kkomera e Luzira kubanga okuva lwe yakwatibwa amagye tegamanyi gyali kubanga yali akomyewo awaka ne bamukwata ku musango gw’atamanyi nga bwebatyo bakamaabe bagendakulowooza nti yadduka mu magye.
Kyokka omulamuzi Namanya yakamutemye nti abanoonyereza ku musango guno bategeeza dda ku bakamabe bwatyo n’amusindika ku limanda mu kkomera e Luzira.
Acellam omusango aguliko ne banne abalala 6 wabula basatu bokka be baalabiseeko mu kkooti okuli Mathias Ssebagala 30 ng’ono makanika omutuuze w’e Busabala Makindye Ssabagabo , Jordan Muwonge nga Bbulooka era omutuuze w’e Kirinnya Bweyogerera n’omuserikale w’ekitongole ekikuumi Solomon Okwany 25 ow’e Kiwatule.
Kigambibwa nti baagibba nga August,7,2024 ku luguudo lwa Kiganda e Nakawa mu Kampala nga yali mmotoka ya poliisi UP 00135 Toyota Landcruiser ekika ya Pick Up ng’ebalirirwamu obukadde 270 nga y’emu ku mmotoka y’omuduumizi wa Poliisi. Guddamu October 15, 2024.
No Comment