PULEZIDENTI w’ekibiina ekitaba Bannamateeka mu Uganda, Isaac Kimaze Ssemakadde yeyamye okulaba ng’abantu bonna bafuna obwenkanya mu mateeka era n’asuubiza obutatirira Ssabasajja Kabaka mu mbeera yonna.
Obweyamo buno abuweredde Bulange-Mmengo gyakyadde olwaleero okwetaba ku mukolo gw’okutongoza obukulembeze bw’abavubuka ba Nkobazambogo mu Buganda ate n’okutongoza enkola eyitibwa Ettu lya Nkobazambogo-abavubuka mu massomero n’amattendekero mwebagenda okuyita okuwaayo ensimbi eziwanirira emirimu gy’Obwakabaka.
“Katikkiro era nzizze wano okukusuubiza obutatirira Ssabasajja Kabaka. Neeyama okutambulira awamu n’Obwakabaka era nva waggulu nga mpaayo 1,000,000/- mu nsawo y’abavubuka okwongera omulimu ogwo gwewatandika mu myaka egisoba mu 20 emabega ogw’okubabangula,”Ssemakadde bweyeyamye.
Isaac Ssemakadde ne bannankobazambogo e Bulange Mmengo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayaniriza Ssemakadde era n’amukulisa okutuuka ku buwanguzi nga September 28,2024 bweyalondeddwa ku bukulu buno n’agamba nti Uganda yetaaga obukulembeze obutambulira ku mateeka lwejja okutumbula enkulakulana.
“Ensi yaffe yetaaga obufuzi obutambulira mu mateeka ate kikulu n’abantu okutegera eddembe lyaabwe ery’obwebange. Eddembe ery’obwebange tewali alikuwa,ozaalibwa nalyo naye waliwo n’eribaweebwa mu Ssemateeka-oyinza okugamba nti eryo eddmebe libaweebwa mu biwandiiko,” Mayiga bwawabudde.
Ssemakadde ow’enjovu enzaalwa ye Mbulire-Bigasa-Bukomansimbi mu Buddu ayongedde n’agamba nti obuwanguzi bweyatuseeko si bubwe yekka wabula bw’abantu bonna naddala abavubuka ba Nkobazambogo bano abamuwagidde kuba bangi ku bano bannamamateeka.
Minisita w’abavubuka mu Buganda,Robert Sserwanga abuulidde abavubuka ng’olunaku lwaabwe bwerugenda okukwatibwa nga November 16,2024 mu Kyadondo ate n’abasaba okugenda mu bungi e Busoga okuwerekera Mayiga ng’alambula abavubuka baayo ku wiikendi eno (October 4-6,2024).
Adrian Lubyayi alayiziddwa n’olukiiko lwe okukulembera Bannankobazambogo ate Ssentebe w’abavubuka mu Buganda, Baker Ssejjengo yasabye Mmengo okulaba ng’eyambako okufunira abavubuka,abeetaaga okugezesebwa,ebifo mu bitongole by’Obwakabaka saako ne bannamukago basobole okufuna okubangulwa okulungi.
Omukolo gwetabiddwako amattendekero ag’enjawulo era agaleese ensimbi ezisukka obukadde butaano zezaleeteddwa amatendekero ag’enjawulo mu nkola y’Ettu.
Abakungu ab’enjawulo okuli Minisita w’amawulire mu Buganda, Israel Kazibwe, abakiise b’abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda olukulu, Patrick Ssembajjo,Jennifer Mirembe Ssensuwa owa Weerinde Insurance